Engero 13
13
1Omwana ow'amagezi awulira okuyigiriza kwa kitaawe:
Naye omunyoomi tawulira kunenyezebwa.#1 Sam 2:25
2Omuntu omulungi afuna ebirungi olw'ebigambo by'ayogera;
Naye omuntu ow'enkwe yeegomba kukola bya bukambwe.#Nge 12:14
3Oyo eyeegendereza mu kwogera, akuuma obulamu bwe;
Naye ayogerayogera ennyo, yeereetera okuzikirira.#Nge 18:7; 21:23
4Emmeeme ey'omugayaavu yeegomba, naye tafuna bye yeegomba.
Naye omunyiikivu, agaggawala.#Nge 6:9-11
5Omuntu omutuukirivu akyawa obulimba:
Naye omuntu omubi omugwagwa,
akola ebiswaza.
6Obutuukirivu bukuuma oyo akwata ekkubo eggolokofu:
Naye ebibi bisuula omwonoonyi.#Nge 11:3
7Waliwo abeeyisa ng'abagagga, naye nga talina kantu.
Ne wabaawo eyeeyisa ng'omwavu, naye ng'alina obugagga bungi.#Nge 11:24, Luk 12:21
8Obugagga bwe bununula obulamu bw'omuntu:
Naye omwavu, talina kiyinza kumununula.
9Abatuukirivu bayakayakana ng'ettaala eyaka,
Naye ababi balinga ettaala ezikidde.#Yob 18:5; 29:3
10Amalala galeeta okuwakana okwereere:
Naye amagezi gaba n'abo abakkiriza okubuulirirwa.
11Obugagga obufunibwa amangu, era buggwaawo mangu.
Naye oyo akuŋŋaanya empolampola, ng'akola emirimu aligaggawala.#Nge 20:21; 21:6
12Okulwawo okufuna ky'osuubira, kulwaza ebirowoozo;
Naye oyo afuna kye yeegomba addamu obulamu.#Nge 3:18
13Buli anyooma ekigambo yeereetako okuzikirira:
Naye oyo agondera ekiragiro aliweebwa empeera.#Kubal 15:31, 2 Byom 36:16
14Enjigiriza y'ab'amagezi, nsuulo ya bulamu,
Eggya abantu mu kufa.#Nge 10:11; 14:27
15Obutegeevu buleetera omuntu okuganja;
Naye ekkubo lya b'enkwe, libaleetera okuzikirira.
16Buli muntu omutegeevu akola emirimu n'okumanya;
Naye omusirusiru ayolesa obutamanya bwe.#Nge 15:2; 18:2, Mub 10:3
17Omubaka omubi, assa abantu mu mitawaana;
Naye omutume omwesigwa aleetawo okuwonyezebwa.#Nge 25:13
18Obwavu n'okuswala bijjira oyo agaana okubuulirirwa:
Naye assaayo omwoyo okunenyezebwa, assibwamu ekitiibwa.#Nge 15:5,32
19Omuntu asanyuka kye yeegomba bwakifuna;
Naye okuva mu bubi kwa muzizo eri abasirusiru.
20Otambulanga n'abantu ab'amagezi, naawe oliba n'amagezi:
Naye akwana abasiru, wa kulaba nnaku.
21Obubi bugoberera abalina ebibi:
Naye abatuukirivu balisasulibwa ebirungi.#Zab 32:10, Luk 6:38
22Omuntu omulungi alekera obusika abaana b'abaana be:
N'obugagga bw'oyo alina ebibi buterekerwa omutuukirivu.#Yob 27:16
23Ennimiro z'abaavu, zibala emmere nnyingi;
Naye abatali benkanya tebaabaganya kugirya.
24Atabonereza mwana we, aba amukyaye;
Naye oyo amwagala amukangavvula ebiro nga bikyali.#Nge 10:18; 22:15
25Omutuukirivu alya,
emmeeme ye n'ekkuta:
Naye omubi alumwa enjala bulijjo.
Currently Selected:
Engero 13: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.