YouVersion Logo
Search Icon

Engero 14

14
1Omukazi ow'amagezi azimba ennyumba ye,
Naye omusirusiru agyabya n'emikono gye ye.#Luus 4:11, Nge 24:3
2Atambulira mu bugolokofu y'atya Mukama;
Naye atali mwesimbu, aba anyooma Mukama.#Nge 28:6
3Omusiru by'ayogera, gwe muggo ogumukuba;
Naye ebigambo by'ow'amagezi, bimukuuma.#Nge 12:6, Yer 18:18
4Atalina nte zirima, taba na mmere;
Naye azirina, aba n'emmere nnyingi.
5Omujulirwa omwesigwa talimba:
Naye omujulirwa ow'obulimba ayogera eby'okuwaayiriza.#Kuv 23:1, Nge 6:19
6Omunyoomi, anoonya amagezi n'atagafuna;
Naye omutegeevu, ayiga mangu.#Nge 8:9; 24:7
7Vva awali omusiru,
Talina bigambo by'amagezi bya kugamba.
8Amagezi g'omutegeevu, gamumanyisa eky'okukola;
Naye abasiru obusirusiru bwabwe bubalimbalimba.
9Abasiru tebafaayo bwe bazza omusango;
Naye abagolokofu bafuna ekisa kya Mukama.#Nge 10:23
10Omutima gumanya okulumwa kwagwo;
So n'omugenyi teyeetabula mu ssanyu lyagwo.
11Ennyumba ey'ababi erisuulibwa:
Naye eweema ey'abagolokofu eneebanga n'omukisa.#Nge 15:25
12Waliwo ekkubo omuntu ly'ayita eddungi,
Naye kunkomerero, nga limutwala mu kufa.#Nge 16:25, Bar 6:21
13Ne mu kuseka omutima gunakuwala;
N'essanyu liyinza okuvaamu obuyinike.#Mub 2:2, Luk 6:25
14Omuntu omubi alifuna ekimugwanira;
N'omuntu omulungi aliweebwa empeera egwanira ebikolwa bye.#Nge 1:31; 12:14, Is 3:10
15Atalina magezi akkiriza buli kigambo kyonna:
Naye omuntu omutegeevu, amala kwetegereza.
16Omuntu ow'amagezi atya n'ava mu bubi:
Naye omusiru aba n'ettitimbuli, amala gakola.#Yob 28:28, Nge 3:7
17Ayanguwa okusunguwala alikola eby'obusirusiru:
N'omuntu asalira banne enkwe, akyayibwa.
18Abasiru baba babuyabuya;
Naye abategeevu bamanya bingi.
19Ababi balivunnamira abalungi;
N'aboonoonyi balyegayiririra ku miryango gy'abatuukirivu.#Lub 42:6
20Omwavu ne mikwano gye gimukyawa;
Naye omugagga aba n'emikwano mingi.#Nge 19:4,7
21Anyooma munne ayonoona:
Naye asaasira abaavu alina omukisa.#Zab 41:1, Nge 11:12
22Abateesa okukola obubi bawaba;
Naye okusaasirwa n'amazima binaabanga n'abo abateesa okukola obulungi.
23Okubaako omulimu gw'okola, kigasa;
Naye okwogera obwogezi kwavuwaza bwavuwaza.
24Ab'amagezi bagaggawala;
Naye ababuyabuya, basiruwala.
25Omujulirwa ow'amazima awonya obulamu bw'omuntu;
Naye aleeta eby'obulimba abulyamu olukwe.#Nge 14:5
26Okutya Mukama kugumya nnyo omuntu;
Era kukuuma abaana be.#Zab 14:6, Nge 1:33
27Okutya Mukama nsulo ya bulamu,
Era kuwonya omuntu okufa.#Nge 13:14
28Obungi bwa abantu kye kitiibwa kya kabaka;
Naye okubulwa abantu kwe kuzikirira kw'omulangira.#1 Bassek 4:20
29Alwawo okusunguwala alina okutegeera kungi:
Naye asunguwala amangu, akola n'ebitajja nsa.#Nge 15:18; 16:32; 19:11, Mub 7:9, Yak 1:19
30Emirembe mu mutima, bwe bulamu bw'omubiri;
Naye obuggya, bugulya nga kookolo.#Nge 12:4
31Ajooga omwavu, anyiiza Omutonzi we;
Naye asaasira oyo eyeetaaga, amussaamu ekitiibwa.#Nge 17:5; 22:2, Mat 25:40,45
32Omubi azikirizibwa kwonoona kwe;
Naye omutuukirivu afa alina essuubi.#Kubal 23:10, Yob 19:25-27, Zab 23:4
33Amagezi gabeera mu mutima gw'oyo alina okutegeera:
Naye ekiri mu mitima gy'abasiru, kimanyiddwa.
34Obutuukirivu bugulumiza eggwanga:
Naye ekibi kivumisa eggwanga lyonna.
35Omuddu akola eby'amagezi y'aganja eri kabaka:
Naye asunguwalira oyo akola ebiswaza.#Nge 16:13, Mak 14:45-47

Currently Selected:

Engero 14: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in