Engero 12
12
1Ayagala okubuulirirwa ayagala okumanya:
Naye oyo akyawa okunenyezebwa aliŋŋaanga ensolo.#Nge 5:12
2Omuntu omulungi anaaweebwanga Mukama ekisa:
Naye omuntu ow'enkwe alimusalira omusango okumusinga.#Nge 8:35
3Omuntu taanywezebwenga lwa bubi:
Naye omutuukirivu talisigukululwa.#Nge 10:25
4Omukazi eyeegendereza aleetera bba ekitiibwa;
Naye aswaza abanga kookolo mu magumba ga bba.#Nge 14:30; 31:10, Lu 3:11
5Ebirowoozo eby'abatuukirivu biba bituufu;
Naye ababi bye bateesa bulimba.#Mat 12:35
6Ebigambo eby'ababi bya butemu,
Naye ebigambo by'abagolokofu biwonya abantu.#Nge 14:3
7Ababi bameggebwa ne babula:
Naye ennyumba ey'abatuukirivu eriyimirira.#Yob 34:25, Nge 10:25,30
8Omuntu asiimibwa ng'amagezi ge bwe gali:
Naye oyo ow'omutima omubi, anyoomebwa.
9Omuntu omwetoowaze, eyekolera,
Asinga oyo eyessaamu ekitiibwa naye nga talina ky'alya.
10Omuntu omutuukirivu alabirira ensolo ze,
Naye omubi tazisaasira, aba mukambwe.#Ma 25:4
11Alima ettaka lye, aliba n'emmere nnyingi;
Naye agoberera ebitaliimu talina kutegeera.#Nge 28:19
12Omunaala gw'ababi, gumenyeka ne gugwa;
Naye omusingi gw'abatuukirivu, gunywera.
13Omuntu omubi, ebigambo bye bye bimukwata,
Naye omutuukirivu awona emitawaana.#Nge 18:7; 21:23, Mat 12:37
14Omuntu alifuna empeera esaanira,
Ebyo by'akola ne by'ayogera.#Nge 13:2; 18:20, Is 3:10,11
15Ekkubo ery'omusirusiru ddungi mu maaso ge ye:
Naye ow'amagezi awuliriza bye bamubuulirira.#Nge 3:7; 16:2
16Okweraliikirira kw'omusirusiru kumanyibwa mangu ago:
Naye omuntu omutegeevu asirikira okuvumibwa.
17Ayogera amazima, ayolesa obutuukirivu,
Naye omujulirwa ow'obulimba ayolesa obukuusa.#Nge 6:19
18Wabaawo ayogera ng'ayanguyiriza, ebigambo bye ne biba ng'ekitala okufumita.
Naye ebigambo by'ab'amagezi, biwonya.#Zab 57:4
19Ebigambo eby'amazima bibeerera emirembe gyonna:
Naye eby'obulimba, bya kaseera buseera.
20Obulimba buli mu mitima gy'abo abateesa okukola obubi:
Naye abateesa emirembe baba n'essanyu.
21Omutuukirivu talibaako kabi k'aliraba:
Naye ababi balijjula ebizibu.#Zab 91:10, Bar 8:28
22Mukama akyayira ddala aboogera eby'obulimba;
Naye abo abakola eby'amazima basanyukira.#Nge 6:17; 11:1,20
23Omuntu omutegeevu akisa bya manyi;
Naye omusiru, alangirira obutamanya bwe.
24Okunyiikira okukola, kukufuula wa buyinza;
Naye omugayaavu akozesebwa omulimu ogw'obuddu.
25Ennaku y'oku mutima, ereeta okwennyamira;
Naye ekigambo ekirungi kigusanyusa.#Nge 15:13
26Omutuukirivu aluŋŋamya banne,
Naye ekkubo ery'ababi libawabya.
27Omuntu omugayaavu tasobola wadde kufumba ky'ayizze;
Naye omunyiikivu, afuna eby'obugagga bingi.
28Mu kkubo ery'obutuukirivu mwe muli obulamu;
naye ekkubo ly'obubi lirimu okufa.#Nge 10:2
Currently Selected:
Engero 12: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.