Engero 11
11
1Mukama akyawa okukozesa ebipimo ebitali bituufu;
Naye asanyukira ekipimo ekituufu.#Leev 19:35,36, Nge 16:11; 20:10,23
2Okuba n'amalala, kuddirirwa kuswala;
Naye okwetoowaza, ge magezi.#Nge 16:18; 18:12; 29:23, Dan 4:30,31
3Obwesimbu bw'omuntu omugolokofu, bumuluŋŋamya;
Naye obukumpanya, buzikiriza ab'enkwe.#Nge 13:6
4Obugagga tebugasa, Katonda nga asunguwadde.
Naye obutuukirivu buwonya mu kufa.#Lub 7:1, Ez 7:19, Zef 1:18
5Obutuukirivu bw'oyo eyatuukirira bunaaluŋŋamyanga ekkubo lye:
Naye omubi aligwa olw'obubi bwe ye.
6Obutuukirivu obw'abagolokofu bulibawonya:
Naye ab'enkwe, balisibibwa okwegomba kwabwe bo.#Zab 7:15,16
7Omuntu omubi bw'afa, okusuubira kwe kuzikirira.
N'essuubi ly'abatali batuukirivu, libula.#Nge 10:28
8Omutuukirivu awonyezebwa ennaku ye,
Ate n'eddira omubi.#Nge 21:18
9Atatya Katonda ayogera,
ebizikiriza munne.
Naye abatuukirivu baliwonyezebwa olw'okumanya.
10Abatuukirivu bwe bafuna ebirungi,
ekibuga kisanyuka:
Era ababi bwe bafa, wabaawo
okuleekaana olw'essanyu.#Nge 28:12
11Omukisa ogw'abagolokofu gwe
gugulumiza ekibuga:
Naye ebigambo by'ababi, bikireetera okuzikirira.
12Anyooma munne talina kutegeera;
Naye omuntu alina okutegeera asirika.#Nge 14:21
13Abungeesa eŋŋambo abikkula ebyama:
Naye omwesigwa, asirikira ekigambo.#Leev 19:16, Nge 20:19
14Okuluŋŋamya okw'amagezi nga kubuze, abantu bagwa:
Naye awali abawi b'amagezi abangi, we waba emirembe.#Nge 15:22; 20:18; 24:6
15Eyeeyimirira oyo gw'atamanyi talirema kwejjusa,
Naye akyawa okweyimirira, anaaba n'emirembe.#Nge 6:1
16Omukazi ow'ekisa assibwamu ekitiibwa;
N'abasajja abakakaalukanyi, bafuna obugagga.
17Ow'ekisa akola bulungi emmeeme ye:
Naye omukambwe yeerumya yekka.#Mat 5:7; 25:34-40
18Omubi afuna empeera emulimbalimba:
Naye oyo asiga obutuukirivu aba n'empeera ey'enkalakkalira.#Kos 10:12, Bag 6:8,9, Yak 3:18
19Anywerera mu butuukirivu ye alituuka mu bulamu:
N'oyo agoberera obubi yetta yekka.#Nge 10:16, Bar 6:23
20Abo abalina omutima omukyamu ba muzizo eri Mukama:
Naye abo abalina ekkubo eryatuukirira basanyukira.#1 Byom 29:17, Zab 119:1
21Awatali kubuusabuusa,
ababi bakubonerezebwa;
Naye abatuukirivu baliwonyezebwa.#Nge 16:5
22Ng'eky'obuyonjo ekya zaabu ekiri mu nnyindo y'embizzi,
Bw'atyo bw'abeera omukazi
omulungi atalina mpisa.
23Abatuukirivu beegomba birungi byereere;
Naye ababi kye basuubira busungu.#Bar 2:8
24Waliwo abasaasaanya, naye ate nga beeyongera kugaggawala;
Era waliwo akodowala okusinga bwe kigwana,
naye neeyongera kwavuwala.#Nge 13:7
25Omuntu omugabi aligaggawala;
N'oyo ayamba abalala,
naye aliyambibwa.#Mat 7:2, 2 Kol 9:6
26Amma banne emmere, abantu balimukolimira;
Naye oyo aguzaako abalala, bamusabira omukisa.
27Anyiikira okunoonyanga ebirungi,
anafuna okuganja;
Naye oyo anoonya okukola ekibi, kyanafunanga.#Es 7:10, Nge 11:6
28Eyeesiga obugagga bwe aligwa:
Naye abatuukirivu banaabanga ng'omuti ogutojjedde.#Zab 92:12, Mak 10:24, Luk 12:20,21, 1 Tim 6:17
29Atawanya ab'omu maka ge, alisikira bbanga;
N'omusiru anaafugibwanga oyo ow'amagezi.#Nge 15:27, Mub 5:16
30Ebibala by'omutuukirivu muti gwa bulamu:
N'oyo alina amagezi afuna emmeeme z'abantu.#Nge 3:18
31Omutuukirivu aliweebwa empeera mu nsi:
N'omubi n'omwonoonyi nabo balifuna ekibasaanira!#1 Peet 4:18
Currently Selected:
Engero 11: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.