1
Engero 11:25
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Omuntu omugabi aligaggawala; N'oyo ayamba abalala, naye aliyambibwa.
Compare
Explore Engero 11:25
2
Engero 11:24
Waliwo abasaasaanya, naye ate nga beeyongera kugaggawala; Era waliwo akodowala okusinga bwe kigwana, naye neeyongera kwavuwala.
Explore Engero 11:24
3
Engero 11:2
Okuba n'amalala, kuddirirwa kuswala; Naye okwetoowaza, ge magezi.
Explore Engero 11:2
4
Engero 11:14
Okuluŋŋamya okw'amagezi nga kubuze, abantu bagwa: Naye awali abawi b'amagezi abangi, we waba emirembe.
Explore Engero 11:14
5
Engero 11:30
Ebibala by'omutuukirivu muti gwa bulamu: N'oyo alina amagezi afuna emmeeme z'abantu.
Explore Engero 11:30
6
Engero 11:13
Abungeesa eŋŋambo abikkula ebyama: Naye omwesigwa, asirikira ekigambo.
Explore Engero 11:13
7
Engero 11:17
Ow'ekisa akola bulungi emmeeme ye: Naye omukambwe yeerumya yekka.
Explore Engero 11:17
8
Engero 11:28
Eyeesiga obugagga bwe aligwa: Naye abatuukirivu banaabanga ng'omuti ogutojjedde.
Explore Engero 11:28
9
Engero 11:4
Obugagga tebugasa, Katonda nga asunguwadde. Naye obutuukirivu buwonya mu kufa.
Explore Engero 11:4
10
Engero 11:3
Obwesimbu bw'omuntu omugolokofu, bumuluŋŋamya; Naye obukumpanya, buzikiriza ab'enkwe.
Explore Engero 11:3
11
Engero 11:22
Ng'eky'obuyonjo ekya zaabu ekiri mu nnyindo y'embizzi, Bw'atyo bw'abeera omukazi omulungi atalina mpisa.
Explore Engero 11:22
12
Engero 11:1
Mukama akyawa okukozesa ebipimo ebitali bituufu; Naye asanyukira ekipimo ekituufu.
Explore Engero 11:1