Okubala 23
23
1Balamu n'agamba Balaki nti, “Nzimbira wano ebyoto musanvu, ontegekere wano ente musanvu n'endiga ennume musanvu.” 2Balaki n'akola nga Balamu bwe yayogera; Balaki ne Balamu ne baweerayo ku buli kyoto ente n'endiga ennume. 3Balamu n'agamba Balaki nti, “Yimirira awali ekiweebwayo ekyokebwa ky'owaayo, nange ŋŋende; mpozzi Mukama anajja okunsisinkana; era buli ky'anaŋŋamba kye nnaakubuulira. N'agenda yekka ku ntikko y'olusozi.” 4Katonda n'asisinkana ne Balamu. Balamu n'amugamba nti, “Ntegese ebyoto omusanvu, era mpaddeyo ente n'endiga ennume ku buli kyoto.” 5Mukama n'ategeeza Balamu by'anaayogera, n'amugamba nti, “ Kati ddayo eri Balaki, oyogera bw'otyo.” 6N'addayo eri Balaki n'amusanga ng'ayimiridde awali ekyokebwa kye yawaayo, ng'ali wamu n'abakulembeze bonna Abamowaabu. 7Balamu n'ayogera obunnabbi buno nti,
“Balaki, kabaka wa Mowaabu,
Yanzija mu Alamu,
mu nsozi z'ebuvanjuba
N'aŋŋamba nti, ‘Jjangu onkolimirire aba Yakobo,
Jjangu osoomoze Abaisiraeri.’
8Naakolimira ntya oyo Katonda gw'atakolimiranga?
Naasoomoza ntya oyo Katonda gw'atasoomozanga?
9Kubanga nnyima ku ntikko y'amayinja okumulaba,
Ne ku nsozi okumulengera:
Abantu abo lye ggwanga eribeera lyokka,
eriteebalira mu mawanga.#Kuv 33:16, 1 Bassek 8:53
10Ani ayinza okubala abaana ba Yakobo abalinga enfuufu?
Oba okubala kitundu ekyokuna ekya Isiraeri?
Ka nfe ng'omutuukirivu bw'afa,
N'enkomerero yange ebe ng'eyiye!”#Lub 13:16, Is 57:1,2
11Balaki n'agamba Balamu nti, “Onkoze ki? Nkututte okukolimira abalabe bange, era, laba, obasabiridde ddala omukisa.”#Ma 23:4,5 12Balamu n'agamba Balaki nti, “Tekiŋŋwanira kwogera ekyo Mukama ky'aŋŋambye okwogera?”
Obunnabbi bwa Balamu obwokubiri
13Nate Balaki n'amugamba nti, “Nkwegayiridde jjangu tugende ffembi mu kifo ekirala, w'onooyinza okubalengerera. Onoolabako bamu, sso si bonna, osinziire eyo okubankolimirira.” 14N'amutwala mu ttale lya Zofimu, ku ntikko y'olusozi Pisuga, nayo n'azimbayo ebyoto musanvu, n'aweerayo ente n'endiga ennume ku buli kyoto. 15Balamu n'agamba Balaki nti, “Yimirira wano awali ekyokebwa ky'owaayo, nze ŋŋende eri nsisinkane Mukama.” 16Mukama n'asisinkana ne Balamu, n'amutegeeza eby'okwogera n'alyoka amugamba nti, “Ddayo eri Balaki oyogere bw'otyo.” 17Balamu n'akomawo eri Balaki we yali ayimiridde, awali ekyokebwa kye yawaayo, ng'ali wamu n'abakulembeze ba Mowaabu. Balaki n'abuuza Balamu nti, “Mukama agambye ki?” 18Balamu n'ayogera obunnabbi buno nti,
“Golokoka, Balaki, owulire;
Ntegera okutu, ggwe mutabani wa Zipoli:
19Katonda si muntu, okulimba;
So si mwana wa muntu okukyusa ky'ayogedde:
Ye ky'asuubiza akikola,
Ky'ayogera akituukiriza.#1 Sam 15:29, Tit 1:2, Beb 6:18
20Laba, Katonda andagidde okuwa omukisa:
Naye awadde omukisa, nange siyinza kugujjulula.#Lub 12:2, Kubal 22:12
21Talabye butali butuukirivu ku Yakobo,
So talabye bubambaavu ku Isiraeri:
Mukama Katonda we ali naye,
N'okwogera boogera nga bw'ali Kabaka waabwe.#Kuv 29:45,46, Yer 50:20
22Katonda abaggya mu Misiri;
Abalwanirira n'amaanyi nga ag'embogo.#Ma 33:17
23Tekisoboka okuloga abaana ba Yakobo,
Wadde okulagula okukola akabi ku Isiraeri.
Kaakano kinaayogerwanga ku baana ba Isiraeri,
Nti Katonda ng'abakoledde!
24Laba, eggwanga lya Isiraeri liringa empologoma ey'amaanyi,
Teriwummula, okutuusa nga limaze okutaagulataagula n'okulya omuyiggo gwalyo,
Era n'okunywa omusaayi gwabo abattiddwa.”
25Awo Balaki n'agamba Balamu nti, “Nga bw'ogaanyi okubakolimira, kale nno leka n'okubasabira omukisa.” 26Naye Balamu n'addamu n'agamba Balaki nti, “Saakugamba nti byonna Mukama by'aliŋŋamba bye ndikola?”
Obunnabbi bwa Balamu obwokusatu
27Balaki n'agamba Balamu nti, “Era jjangu nkutwale awalala; mpozzi Katonda anaasiima ggwe okuyima eyo okubankolimirira.” 28Awo Balaki n'alinnyisa Balamu ku ntikko y'olusozi Peoli, kw'osinziira okulengera eddungu. 29Era Balamu n'agamba Balaki nti, “Nzimbira wano ebyoto musanvu, ontegekere wano ente musanvu n'endiga ennume musanvu.” 30Balaki n'akola nga Balamu bwe yamulagira, n'aweerayo ku buli kyoto ente n'endiga ennume.
Currently Selected:
Okubala 23: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.