YouVersion Logo
Search Icon

Okubala 22

22
Abaana ba Isiraeri nga basiisiide mu nsenyi za Mowaabu
(22:1—36:13)
Kabaka wa Mowaabu atumya Balamu
1Abaana ba Isiraeri ne batambula ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu, emitala wa Yoludaani okwolekera Yeriko.#Kubal 33:48
2Awo Balaki, mutabani wa Zipoli, yali awulidde byonna Isiraeri bye yali akoze Abamoli. 3Mowaabu n'atya nnyo abantu, kubanga bangi; n'atekemuka olw'abaana ba Isiraeri.#Kuv 15:15 4Mowaabu n'agamba abakadde ba Midiyaani nti, “Kaakano ogubinja guno gujja kusaanyaawo byonna ebitwetoolodde, ng'ente bw'erya n'esaanyawo omuddo ogw'oku ttale.” Balaki mutabani wa Zipoli ye yali kabaka wa Mowaabu mu biro ebyo.#Kubal 31:8, Yos 13:21 5Awo n'atuma ababaka eri Balamu, mutabani wa Byoli, e Pesoli, ekiri ku lubalama lw'Omugga Fulaati, mu nsi ya Amawu, okumuyita ng'ayogera nti, “Laba, waliwo abantu abaava mu Misiri, ababuutikidde ensi, era batudde okunjolekera; mbekengedde nange bayinza okunnumba. 6Kale kaakano, nkwegayiridde, jjangu onkolimirire abantu bano, kubanga bansinga amaanyi. Olwo mpozzi tunaasobola okubawangula, ne mbagoba mu nsi eno, kubanga mmanyi nga ggwe, omuntu gw'osabira omukisa, agufuna, era nga buli gw'okolimira, akolimirwa.” 7Awo abakulembeze ba Mowaabu n'aba Midiyaani ne bagenda eri Balamu, nga batutte kye banaamusasula olw'okukolima. Bwe baatuuka gy'ali, ne bamutegeeza ebyo Balaki bye yabatuma.#1 Sam 9:7,8, Mi 3:11, 2 Peet 2:15, Yud 11 8N'abagamba nti, “Musule wano ekiro kino, nange enkya nnabaddiza ebigambo Mukama by'anaŋŋamba.” Abakulembeze ba Mowaabu ne basula ewa Balamu. 9Ekiro ekyo Katonda n'ajja eri Balamu n'amubuuza nti, “Bantu ki bano abali naawe?” 10Balamu n'addamu Katonda nti, “Balaki mutabani wa Zipoli, kabaka wa Mowaabu, yantumira ng'ayogera nti, 11‘Laba, abantu abaava mu Misiri babuutikidde ensi. Jjangu nno, obankolimirire; mpozzi ndiyinza okulwana nabo, ne mbagoba.’ ” 12Katonda n'agamba Balamu nti, “Togenda nabo; tokolimira bantu abo, kubanga baweereddwa omukisa.”#Lub 12:2, Kubal 23:20 13Balamu n'agolokoka enkya, n'agamba abakulu ba Balaki nti, “Muddeyo mu nsi yammwe, kubanga Mukama agaanyi okunzikiriza okugenda nammwe.” 14Abakulembeze ba Mowaabu ne bagolokoka, ne baddayo eri Balaki, ne bamugamba nti, “Balamu agaanyi okujja naffe.” 15Balaki ne yeeyongera nate okutuma abakulembeze, abaasinga abo obungi era abaabasinga n'ekitiibwa. 16Ne bagenda eri Balamu ne bamugamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Balaki mutabani wa Zipoli nti, ‘Nkwegayiridde, waleme okubaawo ekintu kyonna, ekikuziyiza okujja gye ndi; 17kubanga ndikukuza n'obeera n'ekitiibwa kinene nnyo, na buli ky'oliŋŋamba ndikikola. Kale, nkwegayiridde, jjangu onkolimirire abantu bano.’ ” 18Balamu n'addamu n'agamba abaddu ba Balaki nti, “Balaki ne bweyalimpadde ennyumba ye ng'ejjudde effeeza ne zaabu, siyinza kuva ku kigambo kya Mukama Katonda wange, okukikendeezaako oba okukyongerako.#1 Bassek 22:14 19Kale nno, mbeegayiridde, nammwe musule wano ekiro kino, mmale okumanya Mukama ky'aneeyongera okuntegeeza.” 20Katonda n'ajja eri Balamu ekiro ekyo, n'amugamba nti, “Abantu abo nga bwe bazze okukuyita, golokoka ogende nabo; naye ekigambo kyokka kye nnaakugamba ky'ojja okukola.” 21Balamu n'agolokoka enkya n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n'agenda n'abakulembeze ba Mowaabu.
Balamu n'endogoyi ye
22Obusungu bwa Katonda ne bubuubuuka kubanga Balamu yagenda. Awo Balamu bwe yali nga yeebagadde endogoyi ye, nga n'abaddu be babiri bali naye, Malayika wa Mukama n'ayimirira mu kkubo okumuziyiza.#Kuv 4:24 23Endogoyi, bwe yalaba Malayika wa Mukama ng'ayimiridde mu kkubo ng'akutte ekitala ekisowoddwa n'eva mu kkubo n'edda ku nsiko. Balamu n'akuba endogoyi okugizza mu kkubo eriyita mu kiwonvu, we lifundira, eriyita wakati mu nsuku z'emizabbibu nga ebbali n'ebbali eriyo ekisenge. 24Era Malayika wa Mukama n'ayimirira mu kkubo we lifundira, eriyita mu kiwonvu, wakati mu nsuku ez'emizabbibu, eziriko enkomera ez'ebisenge eruuyi n'eruuyi. 25Endogoyi n'eraba malayika wa Mukama, ne yeenyigiriza ku kisenge ky'olukomera, n'ebetentera ekigere kya Balamu ku kisenge; n'agikuba nate. 26Malayika wa Mukama ne yeeyongera okusembera mu maaso, n'ayimirira mu kifo eky'akanyigo ennyo, awatali bwe kyusizo ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono. 27Endogoyi n'eraba malayika wa Mukama, n'egalamira wansi nga Balamu agituddeko. Obusungu bwa Balamu ne bubuubuuka, n'akuba nnyo endogoyi n'omuggo gwe. 28Mukama n'ayasamya akamwa k'endogoyi, n'egamba Balamu nti, “Nkukoze ki ggwe okunkuba emirundi gino gyonsatule?”#2 Peet 2:16 29Balamu n'agamba endogoyi nti, “Kubanga onnyoomye; singa mbadde n'ekitala mu ngalo zange, kaakano nandikusse.” 30Endogoyi n'egamba Balamu nti, “Siri ndogoyi yo, gye weebagalako obulamu bwo bwonna okutuusa leero? Nali nkuyisizzaako bwe nti?” Balamu n'addamu nti, “Nedda.” 31Awo Mukama n'alyoka azibula amaaso ga Balamu, n'alaba malayika wa Mukama ng'ayimiridde mu kkubo, ekitala kye nga kisowoddwa nga kiri mu ngalo ze. Balamu n'akutama, ne yeeyala ku ttaka nga yeevuunise.#2 Bassek 6:17, Luk 24:31 32Malayika wa Mukama n'agamba Balamu nti, “Okubidde ki endogoyi yo emirundi gino gyonsatule? Laba, nzize okukuziyiza, kubanga sikukkirizza kutambula lugendo luno. 33Endogoyi yo bw'endabye ne n'ebalama emirundi gino gyonsatule; singa tenneebalamye, nnandibadde nkusse ggwe, yo ne ngiwonya.” 34Balamu n'agamba malayika wa Mukama nti, “Nnyonoonye; kubanga saategedde ng'oyimiridde mu kkubo okunziyiza. Nga bwe kikunyiizizza ka nkyuke nzireyo.”#1 Sam 15:24; 26:21 35Malayika wa Mukama n'agamba Balamu nti, “Genda n'abantu abo; naye ekigambo kye nnaakugamba kyokka ky'onooyogera.” Awo Balamu n'agenda n'abakulembeze ba Balaki.
Balaki ayaniriza Balamu
36Awo Balaki bwe yawulira nga Balamu azze, n'agenda okumusisinkana mu Kibuga kya Mowaabu, ekiri ku lubalama lw'omugga. 37Balaki n'agamba Balamu nti, “Lwaki tewajja bwe nnakutumira abantu okukuyita ku mulundi ogwasooka? Walowooza nti siyinziza ddala kukukuza n'oba waakitiibwa?” 38Balamu n'agamba Balaki nti, “Kaakati nzize gy'oli; naye sirina buyinza kwogera kigambo kyonna, wabula ekigambo Katonda ky'anateeka mu kamwa kange, ekyo kye naayogera.” 39Awo Balamu n'agenda ne Balaki; ne batuuka mu kibuga Kiriasikuzosi. 40Balaki n'asaddaaka ente n'endiga, n'atumira Balamu n'abakulembeze abaali naye.
Obunnabbi bwa Balamu obwasooka
41Enkeera, Balaki n'atwala Balamu, n'amulinnyisa ku bifo ebigulumivu ebya Baali, n'ayima eyo okulengera ekibiina ekinene eky'abaana ba Isiraeri.

Currently Selected:

Okubala 22: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Okubala 22