Okubala 24
24
1Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama asiimye okuwa Isiraeri omukisa, n'atagenda, kumala kwebuuza nga bwe yakola okusooka, wabula n'ayolekeza amaaso ge eri eddungu. 2Balamu n'ayimusa amaaso ge, n'alaba Isiraeri nga batudde ng'ebika byabwe bwe biddiriraŋŋana. Omwoyo gwa Katonda ne gumujjako.#Kubal 2:2-31, 1 Sam 19:20,23 3Balamu n'ayogera obunnabbi buno nti,
“Balamu, mutabani wa Byoli, ayogera,
Era omusajja alaba obulungi ayogera;
4Ayogera oyo awulira ebigambo bya Katonda,
Ng'atunula n'alaba okwolesebwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna.#1 Sam 19:24, Ez 1:28, Dan 8:17, Kub 1:17
5Nti Eweema zo nga nnungi, ggwe Yakobo,
Ennyumba zo, ggwe Isiraeri!
6Zeeyaliiridde ng'ebiwonvu,
Ng'ensuku eziri ku lubalama lw'omugga,
Ng'emiti egy'omugavu Mukama gye yasimba,
Ng'emiti emyerezi egiri ku lubalama lw'amazzi.#Zab 104:16, Yer 17:8
7Banaafunanga enkuba nnyingi, ne basiga ensigo zaabwe mu nnimiro ezifukiriddwa obulungi.
Ne kabaka we anaasinganga Agagi ekitiibwa,
N'obwakabaka bwe buliba bugazi#2 Sam 5:12
8Katonda eyabaggya mu Misiri;
Abalwanirira n'amaanyi ng'embogo.
Basaanyizaawo ddala abalabe baabwe,
Era bamenyeramenyera ddala amagumba gaabwe,
Bazikiriza n'obusaale bwabwe.
9Eggwanga lya Isiraeri liringa empologoma ey'amaanyi,
Nga yeebase teri agyaŋŋanga okugizuukusa.
Aweebwenga omukisa buli anaasabiranga Isiraeri omukisa,
Era akolimirwenga buli anaakolimiranga Isiraeri.”#Lub 12:3; 27:29
10Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira Balamu, n'akuba mu ngalo. Balaki n'agamba Balamu nti, “Nakuyita okukolimira abalabe bange, ate ggwe obasabiridde ddala omukisa emirundi gino gyonsatule. 11Kale kaakano ddayo ewammwe. Nali nkusuubizza okukukuza obe waakitiibwa nnyo, naye Mukama akuziyizza okuba n'ekitiibwa ekyo.” 12Balamu n'agamba Balaki nti, “Era nnagamba n'ababaka bo be wantumira nti, 13ne bwewalimpadde ennyumba yo ng'ejjudde effeeza n'ezaabu, sandivudde ku kigambo kya Mukama, okukola ebirungi newakubadde ebibi, nga nsinziira mu magezi gange nze. Mukama kye yaŋŋambye kye nkoze. 14Kaakano nzirayo mu bantu bange, naye nga sinnagenda jjangu nkutegeeze abantu bano bye balikola ku bantu bo mu biseera ebijja.” 15Balamu n'ayogera obunnabbi buno nti,
“Balamu, mutabani wa Byoli, ayogera,
Era omusajja alaba obulungi ayogera:
16Oyo awulira ebigambo bya Katonda ayogera.
Era amanyi okumanya kw'oyo ali waggulu ennyo,
Alaba okwolesebwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna,
Ng'agwa wansi, n'amaaso ge nga gatunula n'ayolesebwa;
17Nti Mmulaba, naye si kaakano:
Mmutunuulira, naye tandi kumpi:
Mu Yakobo muliva emmunyeenye,
N'omuggo ogw'obwakabaka guliva mu Isiraeri,
Gulikubira ddala ensonda za Mowaabu,
Gulisaanyizaawo ddala abaana bonna aba Seezi.#Lub 49:10, Yer 48:45, Mat 2:2, Kub 22:16
18Isiraeri alikola eby'obuzira,
Aliwangula Edomu ne Seyiri abaali abalabe be
N'atuula mu butaka bwabwe.#Lub 27:37, 2 Sam 8:14, Zab 60:8,9, Am 9:12
19Era mu Yakobo muliva omufuzi,
Alisaanyawo abalifikkawo mu kibuga.”
20Awo Balamu N'atunuulira Amaleki n'ayogera obunnabbi buno nti,
“Okusooka Amaleki yali asinga amawanga gonna amaanyi,
Naye ku nkomerero alisaanyizibwawo ddala;”
21Awo Balamu n'atunuulira Omukeeni, n'ayogera obunnabbi buno nti,
“Ekifo kye mubeeramu kinywevu,
Kiri ng'ekisu ekyekusifu ekyawanikibwa waggulu ku lwazi.
22Naye Abakeeni mulinyagibwa,
Abasuuli balibawamba ne babatwala nga muli basibe.”
23Era Balamu n'ayogera ebigambo eby'obunnabbi nti,
“Zitusanze!
Katonda bw'alikola ekyo, ani alisigalawo nga mulamu
24Naye ebyombo biriva e Kittimu,
Biribonereza Asuli ne Eberi,
Era naye alizikirizibwa.”#Lub 10:4,21,25, Dan 11:30
25Awo Balamu n'asitula n'addayo ewaabwe, ne Balaki naye n'addayo ewuwe.
Currently Selected:
Okubala 24: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.