YouVersion Logo
Search Icon

Mikka 4

4
Obufuzi bwa Mukama obw'Emirembe
(Is 2:2-4)
1Naye olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma olusozi olw'ennyumba ya Mukama lulinnywezebwa ng'olusinga ensozi zonna obuwanvu, era luliyimusibwa okusinga obusozi bwonna; era abantu baliluddukirako.#Is 2:2-4 2Era amawanga mangi agalijja, ne googera nti, “Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama, n'eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; alyoke atuyigirize amakubo ge, naffe tulitambulira mu go.” Kubanga mu Sayuuni mwe muliva amateeka, n'ekigambo kya Mukama kiriva mu Yerusaalemi. 3Naye alisalira omusango amawanga mangi, era alinenya amawanga ag'amaanyi agali ewala; era baliweesa ebitala byabwe okuba enkumbi, n'amafumu gaabwe okuba ebiwabyo; eggwanga teririyimusa ekitala ku ggwanga, so tebaayigenga kulwana nate.#Yo 3:10 4Naye balituula buli muntu mu muzabbibu gwe ne mu mutiini gwe; so tewalibaawo abakanga; kubanga akamwa ka Mukama ow'eggye ke kakyogedde.#1 Bassek 4:25, Is 1:20 5Kubanga amawanga gonna ganaatambuliranga buli muntu mu linnya lya katonda we, naffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama Katonda waffe emirembe n'emirembe.#Zek 10:12
Abaisiraeri Baliva mu Buwaŋŋanguse
6Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, nditeeka wamu abawenyera, era ndikuŋŋaanya abo abagobebwa n'abo be nnalabisa ennaku;#Ez 11:17; 34:16 7era abawenyera ndibafuula ekitundu ekyasigalawo, n'oyo eyasuulibwa ewala ndimufuula eggwanga ery'amaanyi; era Mukama anaabafugiranga ku lusozi Sayuuni, okusooka kaakano era n'emirembe gyonna.#Zab 2:6, Is 24:23, Luk 1:33, Beb 12:22 8Era naawe, ggwe omunaala ogw'ekisibo, akasozi ak'omuwala wa Sayuuni, gyoli gyalidda, weewaawo okufuga okw'edda kulidda, obwakabaka buliddira omuwala wa Yerusaalemi. 9Lwaki okaaba nnyo? Tewali kabaka gyoli? Akuwa amagezi azikiridde, obubalagaze ne bukukwata ng'omukazi alumwa okuzaala?#Yer 8:19 10Lumwa, era sinda, ggwe omuwala wa Sayuuni, nga omukazi alumwa okuzaala; kubanga kaakano oliva mu kibuga, olisiisira ku ttale, era olituuka e Babbulooni. Eyo gy'olirokokera; era eyo Mukama gy'alikununulira mu mukono gw'abalabe bo.#Is 39:6,7; 44:22,23 11Ne kaakano amawanga mangi agakuŋŋaana okulwana naawe, agoogera nti, “Ayonooneke, era amaaso gaffe gatunuulire ebyo bye gaagala okulaba nga bituuka ku Sayuuni!”#Ob 12, Mi 7:10, Zek 12:3 12Naye tebamanyi birowoozo bya Mukama; so tebategeera kuteesa kwe; kubanga abakuŋŋaanyizza ng'ebinywa by'eŋŋaano, alyoke abakubire mu gguuliro lye.#Kaab 3:12, Mat 3:12 13Yimuka, owuule, ggwe omuwala wa Sayuuni; kubanga ndifuula ejjembe lyo ekyuma, era ndifuula ebinuulo byo ebikomo; naawe olimenyaamenya amawanga mangi; era oliwonga amagoba gaabwe eri Mukama, n'ebintu byabwe eri Mukama w'ensi zonna.#Leev 27:28, Zab 97:5, Is 23:18

Currently Selected:

Mikka 4: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in