Era amawanga mangi agalijja, ne googera nti, “Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama, n'eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; alyoke atuyigirize amakubo ge, naffe tulitambulira mu go.” Kubanga mu Sayuuni mwe muliva amateeka, n'ekigambo kya Mukama kiriva mu Yerusaalemi.