YouVersion Logo
Search Icon

Mikka 3

3
Obutali bwenkanya obuliwo n'essuubi lyobufuzi obw'obwenkanya mu Yerusaalemi
(3:1—5:15)
Mikka Avumirira Abafuzi ba Isiraeri
1Muwulire, mbeegayiridde, mmwe abakulu ba Yakobo, nammwe abafuga ennyumba ya Isiraeri! Si mmwe mwandibadde mumanya obwenkanya?#Yer 5:5 2Mmwe abakyawa ebirungi, era abaagala ebibi; abaggya olususu ku mubiri gw'abantu bange, era n'ennyama okuva ku magumba gaabwe;#Ez 34:3 3abalya ennyama ey'abantu bange; ne mubaggyako olususu, era mumenya amagumba gaabwe mu bitundutundu, ne mugatematema ng'ennyama eri mu ssepiki, era ng'ennyama ey'omu ntamu.#Zab 14:4 4Mu biro ebyo banaakaabiriranga Mukama, so tabaddengamu; weewaawo, anaabakwekanga amaaso ge mu kiseera ekyo, kubanga baafula ebikolwa byabwe ebibi.#Ma 31:17, Nge 1:28, Is 1:15 5Bw'ati bw'ayogera Mukama ebikwata ku bannabbi abaakyamya abantu bange; era aboogerera waggulu nti, “Mirembe;” buli lwe baba n'eky'okulya, naye balangirira olutalo ku buli agaana okuteeka emmere mu mimwa gyabwe.#Yer 6:14; 23:13 6N'olwekyo kiriba kiro gye muli, awatali kwolesebwa; era kizikiza gye muli, awatali kutegeezebwa Katonda by'agamba. Enjuba erigwa ku bannabbi abo, era obudde obw'emisana bulibaddugalira.#Ez 12:24, Am 8:9 7Abalabi balikwatibwa ensonyi, n'abalaguzi baliswala; weewaawo, bonna balibikka ku mimwa gyabwe; kubanga tewali kuddamu kuva ewa Katonda.#Am 8:11, Zek 13:4 8Naye nze, nzijjudde amaanyi, n'omwoyo gwa Mukama, era n'obwenkanya n'obuzira, naangirire eri Yakobo okwonoona kwe era ne Isiraeri ebibi bye.#Is 58:1 9Muwulire kino, mbeegayirira, mmwe abakulu b'ennyumba ya Yakobo, nammwe abafuga ennyumba ya Isiraeri, mmwe abakyawa obwenkanya, era abakyusa okwenkanankana, 10abazimba Sayuuni ku kuyiwa omusaayi, ne Yerusaalemi ku bukyamu.#Yer 22:13, Ez 22:27, Kaab 2:12 11Abakulu baakyo basala omusango, nga bafunye enguzi, ne bakabona baakyo bayigiriza nga bamaze kupangisibwa, ne bannabbi baakyo boogera ebya Katonda nga bamaze kuweebwa ssente; so nga beesigama ku Mukama ne boogera nti, “Mukama tali wakati waffe? Tewali kabi kalitutuukako.”#Is 1:23; 48:2, Yer 6:13; 7:4; 23:17, Mi 7:3 12N'olwekyo olw'okubeera mmwe Sayuuni kyeruliva lulimibwa ng'ennimiro; Yerusaalemi kirifuuka ntuumu ya bifunfugu. Olusozi okuli ennyumba ya Mukama lulimerako ekibira.#Yer 26:18

Currently Selected:

Mikka 3: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in