Mikka 5
5
Yerusaalemi Kizingizibbwa
1“Kaakano ozingiziddwa n'ekisenge; tuzingiziddwa, n'omuggo bakubye ettama ly'omufuzi wa Isiraeri.”
Omufuzi alisibuka mu Besirekemu
2Naye ggwe Besirekemu Efulasa, ggwe omutono mu bika byonna ebya Yuda, mu ggwe mwe muliva aliba gye ndi omufuzi mu Isiraeri; ensibuko ye ya dda na dda, emirembe nga teginnabawo.#Lub 35:19, Zab 90:2, Nge 8:22,23, Is 9:6,7, Kos 6:3, Mat 2:6, Yok 1:1; 7:42, Beb 7:14 3Kyaliva abawaayo okutuusa ku biro oyo alumwa okuzaala lw'alizaala; kale baganda be abasigalawo balikomawo eri bannaabwe abaana ba Isiraeri.#Mi 4:7,9,10 4Naye aliyimirira aliriisa ekisibo kye mu maanyi ga Mukama, ne mu bukulu obw'erinnya lya Mukama Katonda we; era abantu be balibeererawo mu ddembe; kubanga mu nnaku ezo anaabanga mukulu okutuusa ku nkomerero zonna ez'ensi.#Zab 72:8, Is 11:3-5; 40:11, Mi 7:14, Luk 1:33 5Era omuntu oyo aliba mirembe gyaffe; Omwasuli bw'aliyingira mu ensi y'ewaffe, bw'alitambulira ku ttaka lyaffe, kale tulimuyimusizaako abasumba musanvu (7), n'abakungu munaana (8) ab'ekitiibwa. 6Nabo balifuga ensi ya Asuli n'ekitala, era ensi ya Nimuloodi n'ekitala ekisowoddwa; era balitulokola eri Omwasuli bw'aliba atuuse mu nsi y'ewaffe, era bw'alitambulira mu nsalo z'ewaffe.#Lub 10:8,10,11
Okuwonya n'Okubonereza
7Era ekitundu kya Yakobo ekirisigalawo kiriba wakati mu bantu abangi ng'omusulo oguva eri Mukama, era ng'empandaggirize ku muddo; ezitalindirira muntu so n'abaana b'abantu tebazirwisaawo. 8Era aba Yakobo abalisigalawo baliba mu mawanga, wakati w'abantu abangi, ng'empologoma bw'ebeera mu nsolo ez'omu kibira, oba ng'empologoma ento bw'ebeera mu bisibo by'endiga; bw'eziyitamu, n'ezirinnyirira era n'ezitaagulataagula, so tewali azirokola.#Kos 5:14 9Omukono gwo guliyimusibwa eri abalabe bo; n'abakukyawa bonna balizikirira.#Is 26:11
Obuwanguzi
10Era kiriba ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndiggya wakati wo embalaasi zo; era ndizikiriza amagaali go;#Is 2:7, Zek 9:10 11era ndizikiriza ebibuga eby'omu nsi y'ewammwe, ndisuula wansi ebigo byo byonna; 12era ndiggyamu obulogo mu mukono gwo; so toliba na balaguzi nate. 13Ndizikiriza ebifaananyi byo ebyole n'empagi zo; so tolisinza nate emirimu egy'engalo zo. 14Era ndisimbula Baasera bo wakati wo; era ndizikiriza ebibuga byo.#Ma 16:21 15Era mu busungu n'ekiruyi ndiwalana eggwanga ku mawanga agaatagonda.#Zab 149:7, 2 Bas 1:8
Currently Selected:
Mikka 5: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.