YouVersion Logo
Search Icon

Yeremiya 39

39
Yerusaalemi kiwambibwa
1Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omwenda, ogwa Zeddekiya kabaka wa Yuda mu mwezi ogw'ekkumi (10), Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, n'eggye lye lyonna n'alumba Yerusaalemi n'akizingiza;#2 Bassek 25:1-12, Yer 52:4-16 2mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu (11) ogwa Zeddekiya, mu mwezi ogwokuna ku lunaku ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi ogwo, Abakaludaaya ne batema ekituli mu kibuga. 3Yerusaalemi bwe kyawambibwa, abakungu bonna aba kabaka w'e Babbulooni ne bayingira ne batuula mu mulyango ogwa wakati; Nerugalusalezeeri, Samugaluneebo, Salusekimu, Labusalisi, Nerugalusalezeeri, Labumagi, wamu n'abakungu bonna abalala aba kabaka w'e Babbulooni.#2 Bassek 18:17, Yer 1:15 4Awo olwatuuka Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abasajja bonna abalwanyi bwe baabalaba, kale ne badduka ne bava mu kibuga kiro, nga bayitira mu kkubo ery'olusuku lwa kabaka, mu mulyango oguli wakati wa babbugwe ababiri; ne bagenda nga boolekedde Alaba.#39:4 Alaba kitegeeza Ekiwonvu kya Yoludaani.#Ma 1:1 5Naye eggye ery'Abakaludaaya ne libawondera, ne bayisiriza Zeddekiya mu nsenyi e'ze Yeriko; ne bawamba Zeddekiya, awo bwe baamala okumuwamba, ne bamuleeta eri Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni e Libula mu nsi ey'e Kamasi, n'amusalira omusango.#Yos 5:10, Ez 17:15 6Awo kabaka w'e Babbulooni n'attira batabani ba Zeddekiya e Libula, nga Zeddekiya yennyini alaba, era kabaka w'e Babbulooni n'atta n'abakungu bonna aba Yuda. 7Era n'atungulamu Zeddekiya amaaso, n'amusiba n'amasamba okumutwala e Babbulooni.#Ez 12:13 8Abakaludaaya ne bookya ennyumba ya kabaka n'ennyumba ez'abantu omuliro, ne bamenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi.#Nek 1:3, Is 5:5 9Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'atwala e Babbulooni nga basibe abantu bonna, abafisseewo abaali basigadde mu kibuga, era n'abo abaali badduse ne beewaayo eri Abakaludaaya.#Yer 37:13; 40:1 10Naye Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'aleka mu nsi ya Yuda, abamu ku baavu abatalina kintu, n'abawa ensuku ez'emizabbibu n'ennimiro.#2 Bassek 25:12
Yeremiya ateebwa
11Awo Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'alagira Nebuzaladaani omukulu w'abambowa ebikwata ku Yeremiya ng'ayogera nti, 12“Mutwale omulabirire bulungi, so tomukola kabi; naye omukolanga era nga ye bw'anaakugambanga.”#Yer 40:4 13Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa, Nebusazubaani, Labusalisi, Nerugalusalezeeri, Labumagi, n'abaami bonna abakulu aba kabaka w'e Babbulooni; 14ne batumya Yeremiya, ne bamuggya mu luggya olw'abambowa ne bamukwasa Gedaliya mutabani wa Akikamu, Akikamu mutabani wa Safani amutwale eka; awo n'abeera mu bantu.#2 Bassek 22:3,12; 25:22-25, Yer 38:28; 40:5,6
Essuubi lya Ebedumereki
15Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya bwe yali ng'asibiddwa mu luggya olw'abambowa, nga kyogera nti, 16“Genda ogambe Ebedumereki Omuwesiyopya nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndituukiriza ebigambo byange ku kibuga kino, olw'obubi so si lwa bulungi; era birituukirizibwa mu maaso go ku lunaku olwo.#Yer 21:10; 38:7, Dan 9:12 17Naye ggwe ndikuwonyeza ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama, so toliweebwayo mu mukono gw'abasajja b'otya. 18Kubanga sirirema kukulokola, togenda kuttibwa, naye obulamu bwo buliba munyago gy'oli, kubanga weesize nze, bw'ayogera Mukama.’ ”#Zab 25:2; 37:40, Yer 21:9

Currently Selected:

Yeremiya 39: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Yeremiya 39