YouVersion Logo
Search Icon

Yeremiya 38

38
Yeremiya mu luzzi olukalu
1Awo Sefatiya mutabani wa Mallani ne Gedaliya mutabani wa Pasukuli ne Yukali mutabani wa Seremiya ne Pasukuli mutabani wa Malukiya ne bawulira ebigambo Yeremiya bye yabuulira abantu bonna ng'ayogera nti, 2“Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Asigala mu kibuga muno alifa ekitala, n'enjala, ne kawumpuli; naye oyo anafuluma n'agenda eri Abakaludaaya, aliba mulamu, n'obulamu bwe buliba munyago gy'ali, era aliba mulamu.#Yer 21:9 3Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Ekibuga kino tekirirema kuweebwayo mu mukono gw'eggye lya kabaka w'e Babbulooni, naye alikimenya.”#Yer 32:3 4Awo abakungu ne bagamba kabaka nti, “Tukwegayiridde, omusajja ono attibwe; kubanga anafuya abasajja abalwanyi, awamu n'abantu bonna abasigadde mu kibuga muno, ng'abagamba ebigambo ebifaanana bwe bityo: kubanga omusajja ono tayagaliza bantu bano mirembe, wabula obubi.”#Yer 26:11 5Awo Zeddekiya kabaka n'ayogera nti, “Laba, ali mu mikono gyammwe, kubanga kabaka, talina kyayinza kukola okubaziyiza.”#Yer 38:24-28 6Awo ne batwala Yeremiya ne bamusuula mu luzzi lwa Malukiya omwana wa kabaka, olwali mu luggya olw'abambowa, ne basuulamu Yeremiya nga bakozesa emigwa. So mu luzzi temwali mazzi wabula ebitosi, Yeremiya n'atubira mu bitosi.#Lub 37:24, Zab 69:2, Yer 37:16 7Awo Ebedumereki Omuwesiyopya omulaawe eyali mu nnyumba ya kabaka n'awulira nga batadde Yeremiya mu luzzi. Kabaka yali ng'atudde mu mulyango gwa Benyamini;#Is 56:3-5, Bik 8:27 8awo Ebedumereki n'ava mu nnyumba ya kabaka, n'agamba kabaka nti, 9“Mukama wange kabaka, abasajja bano bakoze bubi okusuula Yeremiya nnabbi mu luzzi; era ajja kufiira omwo enjala, kubanga tewakyali mmere yonna mu kibuga.”#Yer 11:22; 37:21 10Awo kabaka n'alyoka alagira Ebedumereki Omuwesiyopya ng'ayogera nti, “Twala abasajja#38:10 Bayibuli ezimu zigamba basatu. asatu (30), ogende nabo, oggyeyo Yeremiya nnabbi mu luzzi nga tannafa.” 11Awo Ebedumereki n'atwala abasajja abo n'agenda nabo, n'ayingira mu nnyumba ya kabaka, mu kasenge ak'etterekero, n'aggyayo ebiwero ebikadde ebyasuulibwa n'enziina envundu, ebyo n'abissiza ku migwa mu luzzi Yeremiya mwe yali. 12Awo Ebedumereki Omuwesiyopya n'agamba Yeremiya nti, “Teeka nno ebiwero bino ebikadde, n'enziina envundu mu nkwawa zo wansi w'emigwa.” Awo Yeremiya n'akola bw'atyo. 13Awo ne baggya Yeremiya mu luzzi nga bamusika n'emigwa egyo, awo Yeremiya n'abeera mu luggya olw'abambowa.
14Awo Zeddekiya kabaka n'atumya Yeremiya nnabbi, era n'amusisinkana ku mulyango ogwokusatu oguli mu nnyumba ya Mukama; awo kabaka n'agamba Yeremiya nti, “Naakubuuza ekigambo; tonkisa kigambo kyonna.” 15Awo Yeremiya n'agamba Zeddekiya nti, “Bwe nnaakubuulira, tonzite? Era ne bwe nnaakuwa amagezi, tojja kumpuliriza.” 16Awo kabaka Zeddekiya n'alayirira Yeremiya, mu kyama ng'ayogera nti, “Nga Mukama bw'ali omulamu, eyakola emmeeme zaffe, sijja kukutta, wadde okukuwaayo mu mukono gw'abantu bano abanoonya obulamu bwo.”#Is 57:16, Yer 37:17; 38:1-9 17#2 Bassek 24:12, Yer 27:12-13; 34:4,5; 39:3Awo Yeremiya n'alyoka agamba Zeddekiya nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Bw'onoofuluma n'ogenda eri abakungu ba kabaka w'e Babbulooni, kale obulamu bwo buliwonyezebwa, n'ekibuga kino tekiryokebwa muliro; era gwe n'ennyumba yo muliba balamu. 18Naye bw'oteweeyo eri abakungu ba kabaka w'e Babbulooni, kale ekibuga kino kiriweebwayo mu mukono gw'Abakaludaaya, era balikyokya omuliro, so naawe toliwona mu mukono gwabwe.” 19Awo kabaka Zeddekiya n'agamba Yeremiya nti, “Ntidde Abayudaaya abasenze Abakaludaaya, bayinza okumpaayo eri Abakaludaaya ne bambonyaabonya.”#1 Sam 31:4 20Naye Yeremiya n'ayogera nti, “Tebalikuwaayo, nkwegayiridde, gondera eddoboozi lya Mukama mu ekyo kye nkugamba; kale lw'onoobera obulungi, era n'obulamu bwo bunawonyezebwa. 21Naye bw'onoogana okwewaayo, kuno kwe kwolesebwa Mukama kwandaze,#Yer 27:12,13 22Laba abakazi bonna abaasigala mu nnyumba ya kabaka wa Yuda, baali baafulumizibwa eri abakungu ba kabaka w'e Babbulooni, era baali boogera nti, ‘Mikwano gyo beewesiganga baakulimba, era baakuwangudde. Kaakati balabye ebigere byo bitubidde mu bitosi, bakyuse bakuvuddeko.’#Yer 20:10 23Bakazi bo bonna n'abaana bo balibafulumya eri Abakaludaaya, era gwe kennyini toliwona mu mukono gwabwe, naye oliwambibwa kabaka w'e Babbulooni; era ekibuga kino balikyokya omuliro.”#Yer 39:6; 41:10 24Awo Zeddekiya n'alyoka agamba Yeremiya nti, “Omuntu yenna aleme okumanya ebigambo ebyo, era togenda kufa. 25Naye abakungu bwe baliwulira nga njogedde naawe ne bajja ne bakugamba nti, ‘Tubuulire nno bye wagamba kabaka, era ne kabaka bye yakugamba; totukisa, naffe tetuukutte;’ 26kale n'olyoka obagamba nti, ‘N'aleeta okwegayirira kwange mu maaso ga kabaka aleme okunzizaayo mu nnyumba ya Yonasaani okufiira omwo.’ ”#Yer 37:20 27Awo abakungu bonna ne bajja eri Yeremiya ne bamubuuza, n'ababuulira ng'ebigambo ebyo byonna bwe byali kabaka bye yali alagidde. Awo ne bamuleka kubanga tewali yali awulidde ebyayogerwa. 28Awo Yeremiya n'abeera mu luggya olw'abambowa okutuusa ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa.#Yer 32:2

Currently Selected:

Yeremiya 38: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Yeremiya 38