YouVersion Logo
Search Icon

Yeremiya 40

40
Yeremiya asigala ne Gedaliya
1Ekigambo ekyajja eri Yeremiya nga kiva eri Mukama, oluvannyuma lwa Nebuzaladaani omukulu w'abambowa okumuteera mu Laama, bwe yamutwala ng'asibiddwa mu masamba, awamu n'abawambe bonna ab'e Yerusaalemi ne Yuda abaali bawaŋŋangusirizibwa e Babbulooni. 2Omukulu w'abambowa n'atwala Yeremiya n'amugamba nti, “ Mukama Katonda wo yalangirira obubi buno ku kifo kino;#Ma 29:24,25 3Mukama abutuukiriza, era akoze nga bwe yayogera; kubanga mwayonoona Mukama, so temugondedde ddoboozi lye, ekigambo kino kyekivudde kibatuukako. 4Kale nno, laba, nkusumulula leero mu masamba agali ku mukono gwo. Oba ng'osiima okujja nange okugenda e Babbulooni, jjangu, nange nnaakukuumanga bulungi; naye oba ng'okiyita kibi okujja nange e Babbulooni, tojja. Laba, ensi yonna eri mu maaso go; gy'osiima okugenda era gy'osinga okwagala, gy'oba ogenda.#Yer 39:12 5Naye bw'osigala, Ddayo nno eri Gedaliya mutabani wa Akikamu, Akikamu mutabani wa Safani, kabaka w'e Babbulooni gw'awadde okufuga ebibuga byonna ebya Yuda, obeere naye mu bantu; oba oyinza okugenda yonna gy'osiima okugenda.” Awo omukulu w'abambowa n'amuwa eby'okulya n'ekirabo, era n'amuta. 6Awo Yeremiya n'agenda eri Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa, n'abeera naye mu bantu, abaali basigadde mu nsi.
Gedaliya omufuzi wa Yuda
(2 Bassek 25:22-24)
7Awo abaami bonna ab'ebitongole abaali mu byalo, ne basajja baabwe, bwe baawulira nga kabaka w'e Babbulooni awadde Gedaliya mutabani wa Akikamu okufuga ensi, era ng'amukwasizza abasajja n'abakazi n'abaana abato, abo abasinga obwavu mu nsi, abataatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babbulooni;#2 Bassek 25:12,23,24, Yer 39:10 8awo ne bajja eri Gedaliya e Mizupa, Isimaeri mutabani wa Nesaniya ne Yokanani ne Yonasaani batabani ba Kaleya ne Seraya mutabani wa Tanukumesi ne batabani ba Efayi Omunetofa, ne Yezaniya omwana w'omu Maakasi, bo ne basajja baabwe.#Yer 41:1-3; 42:1 9Awo Gedaliya mutabani wa Akikamu, Akikamu mutabani wa Safani n'abalayirira bo n'abasajja baabwe ng'ayogera nti, “Temutya kuweereza Abakaludaaya, mubeere mu nsi, muweerezenga kabaka w'e Babbulooni, era munaabanga bulungi. 10Naye nze, laba, nnaabeeranga e Mizupa okubakiikiriranga mmwe, eri Abakaludaaya abalijja gyetuli; naye mmwe mukuŋŋaanye omwenge, n'ebibala eby'omu kyeya, n'amafuta, mubiteeke mu bintu byammwe, mubeerenga mu bibuga byammwe bye mututte.”#Yer 42:12 11Era bwe batyo n'Abayudaaya bonna abaali mu Mowaabu, ne mu baana ba Amoni, ne mu Edomu n'abo abaali mu nsi endala zonna bwe baawulira nga kabaka w'e Babbulooni, yaleka Abayudaaya abamu abaafikkawo okusigala mu Yuda, era ng'akuzizza ku bo Gedaliya mutabani wa Akikaamu, Akikamu mutabani wa Safani; 12kale Abayudaaya bonna ne bakomawo nga bava mu bifo byonna gye baali babagobedde ne bajja mu nsi ya Yuda eri Gedaliya e Mizupa, ne bakuŋŋaanya omwenge n'ebibala eby'omu kyeya bingi nnyo nnyini.#Yer 43:5
Gedaliya atemulwa
(2 Bassek 25:25-26)
13Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali mu byalo ne bajja eri Gedaliya e Mizupa,#Yer 41:11; 42:1,2 14ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Baalisi kabaka w'abaana ba Amoni atumye Isimaeri mutabani wa Nesaniya okukutta?” Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n'atabakkiriza.#Yer 41:10 15Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'ayogera ne Gedaliya e Mizupa kyama ng'agamba nti, “Ka ŋŋende, nkwegayiridde, nzite Isimaeri mutabani wa Nesaniya, so tewaliba muntu alikimanya; yandikuttidde ki, Abayudaaya bonna abakukuŋŋaaniddeko ne basaasaana, era n'abantu bonna abaafikkawo abasigala mu Yuda ne bazikirira?” 16Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n'agamba Yokanani mutabani wa Kaleya nti, “Tokola kigambo ekyo, kubanga Isimaeri omuwaayiriza.”

Currently Selected:

Yeremiya 40: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Yeremiya 40