1
Yeremiya 38:20
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Naye Yeremiya n'ayogera nti, “Tebalikuwaayo, nkwegayiridde, gondera eddoboozi lya Mukama mu ekyo kye nkugamba; kale lw'onoobera obulungi, era n'obulamu bwo bunawonyezebwa.
Compare
Explore Yeremiya 38:20
2
Yeremiya 38:9-10
“Mukama wange kabaka, abasajja bano bakoze bubi okusuula Yeremiya nnabbi mu luzzi; era ajja kufiira omwo enjala, kubanga tewakyali mmere yonna mu kibuga.” Awo kabaka n'alyoka alagira Ebedumereki Omuwesiyopya ng'ayogera nti, “Twala abasajja asatu (30), ogende nabo, oggyeyo Yeremiya nnabbi mu luzzi nga tannafa.”
Explore Yeremiya 38:9-10
3
Yeremiya 38:2
“Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Asigala mu kibuga muno alifa ekitala, n'enjala, ne kawumpuli; naye oyo anafuluma n'agenda eri Abakaludaaya, aliba mulamu, n'obulamu bwe buliba munyago gy'ali, era aliba mulamu.
Explore Yeremiya 38:2