Yeremiya 37
37
Zeddekiya kye yasaba Yeremiya
1Awo Zeddekiya mutabani wa Yosiya, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni gwe yafuula kabaka mu nsi ya Yuda, n'afuga mu kifo kya Koniya mutabani wa Yekoyakimu.#2 Bassek 24:17, Yer 22:24, Ez 17:13 2Naye newakubadde Zeddekiya, oba abaddu be wadde abantu ab'omu nsi, tebawulira bigambo bya Mukama bye yayogerera mu nnabbi Yeremiya.#2 Byom 36:12-14
3Awo kabaka Zeddekiya n'atuma Yekukaali mutabani wa Seremiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona eri nnabbi Yeremiya, ng'agamba nti, “Tusabire nno eri Mukama Katonda waffe.”#Yer 21:2 4Era Yeremiya yayingiranga n'afulumanga mu bantu, kubanga baali tebannamuteeka mu kkomera.#Yer 32:2; 33:1 5Eggye lya Falaawo lyali livudde mu Misiri; awo Abakaludaaya abaali bazingizizza Yerusaalemi bwe baawulira amawulire agabakwatako, ne basaasaana okuva mu Yerusaalemi.#Ez 17:15 6Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri nnabbi Yeremiya nga kyogera nti, 7“Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti, Bwe muti bwe muba mugamba kabaka wa Yuda eyabatuma gye ndi okumbuuza; nti Laba, eggye lya Falaawo eribadde lizze, lijja kuddayo mu nsi yaalyo Misiri.#2 Bassek 24:7, Yer 46:17, Kung 4:17, Ez 29:2,6 8Era Abakaludaaya balikomawo ne balwanyisa ekibuga kino; era balikimenya ne bakyokya omuliro.”#Yer 34:22 9Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Temwerimba nga mwogera nti “Abakaludaaya tebalirema kutuvaako;” kubanga tebalibavaako. 10“Kuba newakubadde nga mwandigobye eggye lyonna ery'Abakaludaaya abalwana nammwe, ne musigala mu bo ab'ebiwundu bokka, abagalamidde mu weema zaabwe, era abo banaagolokoka ne bookya ekibuga kino omuliro.”#Yer 21:4
Yeremiya akwatibwa n'asibwa mu kkomera
11Awo olwatuuka eggye ery'Abakaludaaya bwe lyamala okusaasaana okuva ku Yerusaalemi olw'okutya eggye lya Falaawo, 12kale Yeremiya n'afuluma mu Yerusaalemi okugenda mu nsi ya Benyamini okuweebwa omugabo gwe mu bantu be.#Yer 1:1; 32:8,9 13Awo bwe yali ku mulyango gwa Benyamini, omukulu w'abambowa eyali awo, erinnya lye Iriya mutabani wa Seremiya, Seremiya mutabani wa Kananiya; n'akwata Yeremiya nnabbi ng'ayogera nti, “Otoloka osenge Abakaludaaya.”#Yer 21:9 14Awo Yeremiya n'ayogera nti, “Olimba sitoloka kusenga Bakaludaaya;” naye Iriya n'atamuwuliriza, era n'akwata Yeremiya n'amuleeta eri abakungu.#Yer 36:12 15Awo abakungu ne basunguwalira Yeremiya ne bamukuba ne bamuteeka mu kkomera mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi; kubanga ennyumba eyo gye baali bafudde ekkomera.#Beb 11:36 16Awo Yeremiya bwe yatuuka mu kasenge mu nnyumba ey'obunnya, era ng'amazeemu ennaku nnyingi;#Yer 21:7; 38:6-14,16 17awo Zeddekiya kabaka n'amutumya era naamusembeza; kabaka n'amubuuza kyama mu nnyumba ye n'ayogera nti, “Waliwo ekigambo kyonna ekivudde eri Mukama?” Awo Yeremiya n'ayogera nti, “Weekiri.” Era n'ayogera nti, “Oliweebwayo mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni.” 18Era nate Yeremiya n'agamba kabaka Zeddekiya nti, “Nali nkwonoonye mu ki ggwe, oba abaddu bo, oba abantu bano, n'okuteeka ne munteeka mu kkomera? 19Bannabbi bammwe nno bali ludda wa abaabalagulanga nga boogera nti Kabaka w'e Babbulooni talibatabaala mmwe, newakubadde ensi eno?#Yer 28:2,11,17 20Kale nno wulira, nkwegayiridde, ayi mukama wange kabaka, okwegayirira kwange kukkirizibwe mu maaso go, nkwegayiridde; oleme okunziza mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, nneme okufiira omwo.”#Yer 38:26 21Kale kabaka Zeddekiya n'alagira ne bateeka Yeremiya mu luggya olw'abambowa, ne bamuwa buli lunaku omugaati okuva luguudo abafumbi b'emigaati kwe baabeeranga, okutuusa emigaati gyonna egy'omu kibuga lwe gyaggwaawo. Awo Yeremiya n'abeera bw'atyo mu luggya olw'abambowa.#Yer 38:28; 52:6, Ez 4:16
Currently Selected:
Yeremiya 37: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.