Yeremiya 21
21
Ebyatuuka ku Yeremiya (21:1—29:32)
1Kino kye kigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, kabaka Zeddekiya owa Yuda,#2 Bassek 25:18, Yer 29:25; 37:3 bwe yamutumira Pasukuli mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona ng'ayogera nti, 2“Nkwegayiridde, tubuulize eri Mukama; kubanga Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni atutabaala; mpozzi Mukama anaatukola ng'ebikolwa bye byonna eby'ekitalo bwe biri, era Nebukadduneeza anaatuvaako.”#2 Bassek 25:1, Zab 105:2,5
3Awo Yeremiya n'abagamba nti, “Mugambe Zeddekiya nti, 4Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri nti, Laba, ndizza emabega eby'okulwanyisa ebiri mu mikono gyammwe bye mulwanyisa ne kabaka w'e Babbulooni n'Abakaludaaya ababazingiza, abali ebweru wa bbugwe, era ndibakuŋŋaanyiza wakati mu kibuga kino.#Yer 32:5; 37:10 5Nange mwene ndirwana nammwe n'engalo ezigoloddwa n'omukono ogw'amaanyi, nga ndiko obusungu n'ekiruyi, era n'obukambwe obungi.#Kuv 6:6, Ma 4:34; 29:28, Yer 27:5; 32:37 6Era nditta abali mu kibuga kino, abantu era n'ensolo; balifa kawumpuli ow'amaanyi.” 7Awo oluvannyuma, bw'ayogera Mukama ndigabula Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abaddu be n'abantu, abo bonna mu kibuga kino, abaliwona kawumpuli n'ekitala n'enjala, mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni ne mu mukono gw'abalabe baabwe ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe; era alibatta n'obwogi bw'ekitala; talibasonyiwa so talibakwatirwa kisa so talibasaasira.#Ma 28:50, Yer 37:17; 39:5; 52:9, Ez 5:11 8“Era ogambanga abantu bano nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, nteeka mu maaso gammwe ekkubo ery'obulamu n'ekkubo ery'okufa.#Ma 30:15,19, Yer 38:2 9Abeera mu kibuga muno alifa n'ekitala n'enjala ne kawumpuli; naye oyo akivaamu n'asenga Abakaludaaya abaabazingiza ye aliba omulamu, n'obulamu bwe buliba ng'omunyago gy'ali.#Yer 15:2; 38:17; 39:18; 45:5 10Kubanga ntadde amaaso gange ku kibuga kino, okukireetako obubi so si bulungi, bw'ayogera Mukama, kirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, naye alikyokya omuliro.”#Zab 34:16, Yer 44:11, Ez 14:8, Am 9:4
Obubaka bw'ab'olulyo lwa Dawudi
11“Era eri ennyumba ya kabaka wa Yuda yogera nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama, 12Mmwe ennyumba ya Dawudi,’ bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Musalenga emisango buli nkya, era muggyenga omunyago mu mukono gw'omujoozi, ekiruyi kyange kireme okubuubuuka ng'omuliro ne kibookya ne wataba ayinza okukizikiza, olw'obubi obw'ebikolwa byammwe.”#Yer 4:4; 22:3,16, Zek 7:9, Yer 5:19 13“Laba, ndi mulabe wo, ayi ggwe abeera mu kiwonvu n'awali olwazi olw'omu lusenyi, bw'ayogera Mukama; mmwe aboogera nti, ‘Ani aliserengeta okututabaala? Oba ani aliyingira mu nnyumba zaffe?’#Yer 49:4, Ez 13:8 14Era ndibabonereza ng'ebibala bwe biri eby'ebikolwa byammwe, bw'ayogera Mukama, era ndikuma omuliro mu kibira kyakyo, era gulyokya byonna ebikyetoolodde.”#Nge 1:31, Ez 20:47
Currently Selected:
Yeremiya 21: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.