“Era ogambanga abantu bano nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, nteeka mu maaso gammwe ekkubo ery'obulamu n'ekkubo ery'okufa. Abeera mu kibuga muno alifa n'ekitala n'enjala ne kawumpuli; naye oyo akivaamu n'asenga Abakaludaaya abaabazingiza ye aliba omulamu, n'obulamu bwe buliba ng'omunyago gy'ali.