Yeremiya 22
22
Zeddekiya alabulwa ku kugwa kwa Yerusaalemi
1Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Serengeta eri ennyumba ya kabaka wa Yuda, era omugambe ebigambo bino, 2‘Wulira ekigambo kya Mukama, ayi kabaka wa Yuda atuula ku ntebe ya Dawudi, ggwe n'abaddu bo n'abantu bo abayingirira mu miryango gino.’ 3Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Musalenga emisango mu bwenkanya, muggyenga omunyago mu mukono gw'omujoozi; so temulyazaamaanyanga, temugiriranga kyejo mugenyi newakubadde atalina kitaawe newakubadde nnamwandu, so temuyiwanga musaayi ogutaliiko musango mu kifo kino.#Leev 19:33, Zab 82:3, Is 1:17, Yer 7:5,6; 26:15 4Kubanga bwe muligondera ddala ekigambo ekyo, muliyingirira mu miryango egy'ennyumba eno, bassekabaka balituula ku nnamulondo ya Dawudi, nga batambulira mu magaali era nga beebagala embalaasi, ye n'abaddu be n'abantu be.#Yer 17:25 5Naye bwe mutalikkiriza kuwulira bigambo bino, nneerayirira nzekka, bw'ayogera Mukama, ng'ennyumba eno erifuuka matongo.”#Lub 22:16, Is 64:10, Yer 25:11; 44:6; 49:13; 51:14, Ez 5:14, Am 6:8, Beb 6:13 6Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama ebikwata ku by'ennyumba ya kabaka wa Yuda nti, “Ggwe olinga Gireyaadi gyendi, nga entikko ya Lebanooni, era naye sirirema kukufuula ddungu n'ekibuga omutali bantu. 7Era ndikutegekera abazikiriza, buli muntu ng'alina eby'okulwanyisa bye; era balitema emivule gyo egisinga obulungi, ne bagisuula mu muliro.” 8“ Kale amawanga mangi galiyita awali ekibuga kino, era buli muntu alibuuza munne nti, Lwaki Mukama akoze bwati ekibuga kino ekikulu?”#Yer 5:19 9Awo ne baddamu nti, “Kubanga baaleka endagaano ya Mukama Katonda waabwe, ne basinza bakatonda abalala ne babaweereza.”#Ma 29:25,26
Obubaka obufa ku Sallumu
10Temukaabira maziga oyo eyafa, so temumukungubagira; naye mumukaabire nnyo nnyini amaziga oyo agenda; kubanga takyadda nate so taliraba nsi y'ewaabwe.#2 Byom 35:24,25 11Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama ku bya Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya kitaawe okufuga era eyagenda okuva mu kifo kino nti, “Takyadda nate wano;#2 Bassek 23:24, Ez 19:4 12naye mu kifo gye baamutwala nga musibe, eyo gy'alifiira, so taliddayo kulaba nsi eno nate.”
Obubaka obufa ku Yekoyakimu
13“Zimusanze oyo azimba ennyumba ye olw'obutali butuukirivu, n'ebisenge bye olw'okulyazaamaanya; ng'akozesa munne obwereere, so tamuwa mpeera ye;#Leev 9:13; 25:39,40, Mi 3:10, Kaab 2:12, Yok 5:4 14ayogera nti, ‘Neezimbira ennyumba engazi n'ebisenge ebinene, ne ngiteekako amadirisa, ne ngitindiza embaawo ez'emivule, era n'esiigibwako langi.’ 15Olowooza nti oli kabaka kubanga ovuganya mu mivule egisinga egyabalala? Kitaawo teyalyanga n'anywanga, n'akolanga eby'obwenkanya n'eby'obutuukirivu? Kale yakolanga ebyo n'aba bulungi.#2 Bassek 23:25, Zab 128:2, Mub 8:12, Is 3:10 16Yasalanga omusango gw'omwavu n'eyeetaaga; kale n'aba bulungi. Okwo si kwe kwali okummanya? Bw'ayogera Mukama.#Nge 31:9, Ez 22:13 17Naye olina amaaso n'omutima nga bituukiriza kwegomba kwo kwokka, okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, n'okujooga, n'obukambwe.” 18Mukama kyava ayogera ku bya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nti, “Tebalimukungubagira nga boogera nti, Woowe, muganda wange! Oba nti Woowe, mwannyinaze! tebalimukungubagira nga boogera nti, Woowe, mukama wange! oba nti, Woowe, kabaka waffe!#1 Bassek 13:30, Yer 16:4-6; 34:5 19Aliziikibwa ng'endogoyi bw'eziikibwa, ewalulwa n'esuulibwa ebweru w'emiryango gya Yerusaalemi.”#Yer 8:2; 36:30
Ebirituuka ku Yerusaalemi
20“Linnya ku Lebanooni okaabe, era oyimuse eddoboozi lyo mu Basani; okaabe ng'oyima ku Abalimu; kubanga baganzi bo bonna bazikiridde.#Yer 3:1 21N'ayogera naawe bwe wali ng'okyalaba omukisa; naye n'oyogera nti Siiwulire. Kubanga eyo ye yabanga empisa yo okuva mu buto bwo, obutagonderanga ddoboozi lyange. 22Embuyaga ze ziririisa abasumba bo bonna, ne baganzi bo balitwalibwa okusibibwa; kale tolirema kukwatibwa nsonyi n'oswala olw'obubi bwo bwonna.#Yer 3:25, Ez 34:10 23Ayi ggwe abeera ku Lebanooni, akola ekisu kyo ku mivule, ng'oliba wa kusaasirwa nnyo, obulumi bwe bulikukwata, obubalagaze ng'obw'omukazi alumwa okuzaala!#Is 13:8, Yer 6:24, Zek 14:11, Bar 10:4, 1 Kol 1:30
Ebifa ku Yekoyakimu
24“Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, newakubadde ggwe Koniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda wali empeta ey'akabonero ku mukono gwange ogwa ddyo, naye ndikwegyako;#Lu 8:6, Kag 2:23 25ne nkugabula mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwo, ne mu mukono gw'abo b'otya, mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, ne mu mukono gw'Abakaludaaya.#Yer 34:20; 39:17 26Era ndikugobera, ggwe ne nnyoko akuzaala, mu nsi endala gye mutaazaalirwa; era mulifiira eyo.#2 Bassek 24:8,15 27Emmeeme yammwe ery'e gomba okudda mu nsi eno, naye temulidda.”#Yer 44:14 28Omusajja ono Koniya luggyo olwatifu era olunyoomebwa, ekibya ekitalina akifaako? Lwaki ye n'ezzadde lye, bagoberwa era ne basuulibwa mu nsi gye batamanyi?#Zab 31:12, Yer 15:14; 48:38, Kos 8:8 29Ayi ensi, ensi, ensi! wulira ekigambo kya Mukama.#Is 1:2 30Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Muwandiike omusajja ono nga atalina baana, era omusajja ataliraba mukisa mu biro bye; kubanga tewaliba muntu wa ku zzadde lye aliraba omukisa, era alituula ku nnamulondo ya Dawudi, oba alyeyongera nate okufuga mu Yuda.”#1 Byom 3:17, Yer 36:30, Mat 1:12
Currently Selected:
Yeremiya 22: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.