YouVersion Logo
Search Icon

Yeremiya 20

20
Yeremiya ne kabona Pasukuli
1Awo Pasukuli kabona mutabani wa Immeri, eyali omwami omukulu ow'omu nnyumba ya Mukama, n'awulira Yeremiya ng'ayogera ebigambo ebyo.#Ezer 2:37,38 2Awo Pasukuli n'akuba Yeremiya nnabbi, n'amusiba mu nvuba eyali ku mulyango ogw'engulu ogwa Benyamini ogwali mu nnyumba ya Mukama.#2 Byom 16:10, Yer 29:26, Bik 16:14 3Awo olwatuuka enkya, Pasukuli n'aggya Yeremiya mu nvuba. Awo Yeremiya n'amugamba nti, “ Mukama takyayita linnya lyo Pasukuli wabula akuyita#20:3 kitegeeza kabi ku buli ludda. Magolumissabibu. 4Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ndikufuula eky'entiisa eri ggwe kennyini n'eri mikwano gyo bonna. Baligwa n'ekitala eky'abalabe baabwe, n'amaaso go galikiraba, era ndiwaayo Yuda yenna mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, naye alibatwala e Babbulooni nga basibe, era alibatta n'ekitala.#Yer 6:25 5Era nate ndiwaayo obugagga bwonna obw'omu kibuga kino n'amagoba gaamu gonna n'ebintu byamu byonna eby'omuwendo omungi, weewaawo, ebintu byonna ebya bassekabaka ba Yuda ndibiwaayo mu mukono gw'abalabe baabwe, abalibanyaga ne babakwata ne babatwala e Babbulooni.#2 Bassek 20:17; 24:13; 25:13-17 6Naawe, Pasukuli, n'abo bonna abali mu nnyumba yo baligenda mu busibe; era olituuka e Babbulooni, olifiira eyo, oliziikibwa eyo, ggwe ne mikwano gyo bonna be wagamba eby'obulimba.”#Yer 14:14
Yeremiya yeemulugunyiza Mukama
7Ayi Mukama, wannimba era nange ne nnimbibwa, onsinga amaanyi era ompangudde. Nfuuse ekisekererwa okuzibya obudde, buli muntu ankudaalira.#Zab 119:51, Kung 3:14 8Kubanga buli lwe njogera, njogerera waggulu nti, “Okunyaga n'okuzikiriza!” Kubanga ekigambo kya Mukama kifuuse gyendi ekivume era eky'okusekererwa okuzibya obudde.#Zab 79:4, Yer 6:7,10 9Era bwe njogera nti, “Siimwogereko, so sikyayogerera mu linnya lye, kale mu mutima gwange muba ng'omuli omuliro ogubuubuuka ogusibibwa mu magumba gange, era nga nkooye okuguwanirira, era sisobola.”#Yob 32:18,19, Zab 39:3, Yer 6:11 10Kubanga mpulira obwama. Entiisa eri ku buli ludda! “Mu mwegaane! Muleke tumwegaane!” Bwe boogera mikwano gyange ennyo bonna, nga balindirira okugwa kwange. “Oboolyawo anaasendebwasendebwa, naffe tunaamuwangula, era tulimuwalanako eggwanga.”#Zab 31:13; 35:15; 41:9; 56:6, Yer 9:4 11Naye Mukama ali nange ng'ow'amaanyi ow'entiisa; abanjigganya kyebaliva beesittala so tebaliwangula, baliswala nnyo, kubanga tebakoze bya magezi, balikwatibwa ensonyi ezitaliggwaawo eziteerabirwenga ennaku zonna.#Yer 1:8,19; 17:18; 23:40 12Naye, ayi Mukama w'eggye, akema omutuukirivu, alaba emmeeme ey'omunda, nsaba ndabe eggwanga lyo ly'oliwalana ku bo; kubanga gyoli gye ntadde ensonga yange.#Yer 11:20 13Muyimbire Mukama, mutendereze Mukama! Kubanga awonyezza emmeeme y'oyo eyeetaaga mu mukono gw'abo abakola obubi.#Zab 35:9,10; 109:30,31
14Lukolimirwe olunaku lwe nnazaalirwako! Olunaku mmange kwe yanzaalira luleme okuweebwa omukisa.#Yob 3:3, Yer 15:10 15Akolimirwe oyo eyaleetera kitange amawulire agamusanyusa nti, “Ozaaliddwa mwana wa bulenzi.” 16Era omusajja oyo abeere ng'ebibuga Mukama bye yasuula nga tasaasidde; awulire okukaaba enkya, n'okwogerera waggulu mu ttuntu;#Lub 19:24,25, Yer 18:22 17kubanga teyanzita bwe nali nkyali mu lubuto; bw'atyo mmange yandibadde entaana yange, n'olubuto lwe lwandibadde lukulu ennaku zonna. 18Naviira ki mu lubuto okulaba okutegana n'obuyinike, era n'okumala ennaku zange zonna mu nsonyi?#Yob 3:10,11,20, Kung 3:1,2

Currently Selected:

Yeremiya 20: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Yeremiya 20