Yeremiya 15
15
Akabi ku bantu b'omu Yuda
1Awo Mukama n'alyoka aŋŋamba nti, “Newakubadde nga Musa ne Samwiri bandiyimiridde mu maaso gange, era emmeeme yange teyandiyinzizza kutunuulira bantu bano. Bagobe bave mu maaso gange, era obaleke bagende!#1 Sam 7:9; 12:23, Zab 99:6; 106:23, Yer 15:19, Ez 14:14 2Awo olulituuka bwe balikubuuza nti, ‘Tunagenda wa?’ Kale n'obagamba nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, Ab'okuttibwa bagende eri okuttibwa; n'ab'ekitala eri ekitala; n'ab'enjala eri enjala; n'ab'okusibibwa eri okusibibwa.’”#Yer 14:12, Ez 5:12 3“Era ndibalondera engeri nnya ez'okuzikiriza, bw'ayogera Mukama, ekitala okutta, embwa okutaagula, ennyonyi ez'omu bbanga, n'ensolo ez'omu nsi, okulya n'okuzikiriza.#Ma 28:26, Leev 26:16-22, Kub 6:8 4Era ndibafuula entiisa eri obwakabaka bwonna obw'ensi, olw'ekyo Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda kye yakola mu Yerusaalemi.”#Ma 28:25, Yer 24:9 5“Kubanga ani alikusaasira, ggwe Yerusaalemi? Oba ani alikukungubagira? Oba ani alikyuka n'abuuza ebifa gy'oli?#Is 51:19 6Oŋŋaanyi, bw'ayogera Mukama, ozze emabega, kyenvudde nkugololerako omukono gwange ne nkuzikiriza; nkooye okukusaasira.#Ma 32:15, Yer 7:24 7Mbaweye n'ekiwewa eky'ekyuma mu miryango egy'ensi; mbafudde abakungubaga, nzikirizza abantu bange; Tebakomawo okuva mu makubo gaabwe.#Is 41:16, Yer 5:3, Am 4:6,8-11, Mat 3:12 8Nfudde bannamwandu baabwe okuba abangi okusinga omusenyu ogw'ennyanja ndeese ku bannyina ba bavubuka abato omuzikiriza mu ttuntu, mbatuusizako obubalagaze n'ebitiisa okubagwira amangu. 9Eyazaala abaana omusanvu ayongobera era azirise; obulamu bumuggwaamu; enjuba ye egudde nga bukyali bwa misana; akwatiddwa ensonyi, aswadde; n'abalifikkawo ku bo ndibagabula eri ekitala mu maaso g'abalabe baabwe, bw'ayogera Mukama.”#1 Sam 2:5, Am 8:9
Yeremiya yeemulugunya
10Zinsanze, nnyabo, kubanga wanzaala nga ndi musajja wa nnyombo era ow'empaka eri ensi zonna! Siwolanga lwa magoba, so n'abantu tebampolanga lwa magoba; naye buli muntu ku bo ankolimira.#Kuv 22:25, Yer 20:14 11Kale kituukirire ayi Mukama, bwemba nga sakwegayirira olw'obulungi bwabwe, era bwemba ssaasabira mulabe wange mu biro eby'okulabiramu ennaku ne mu biro eby'okubonyaabonyezebwamu.
12Omuntu ayinza okumenya ekyuma, naddala ekyuma ekiva e bukiikakkono, oba ekikomo?#Yer 1:13 13“Ebintu n'obugagga eby'abantu bange ndibiwaayo okuba omunyago awatali muwendo, olw'ebibi byo byonna, bye bakoze mu ggwanga lyonna.#Zab 44:12, Yer 17:3 14Ndibaleeta okuweereza abalabe bammwe mu nsi gy'otomanyi, kubanga olw'obusungu bwange omuliro gukumiddwa, era gujja kwaka emirembe gyonna.”#Ma 32:22, Yer 9:16; 16:13; 17:4; 22:28
Yeremiya addamu Katonda
15“Ayi Mukama, ggwe omanyi; nzijukira onkyalire, ompalanire eggwanga ku abo abanjigganya; olw'obugumiikiriza bwo tonzigirawo ddala, manya nga nvumiddwa nnyo okunnanga ggwe.#Balam 16:28, Zab 69:7 16Ebigambo byo nnabizuula, ne mbirya, era ebigambo byo byali bya ssanyu gye ndi, n'omutima gwange ne gujjula okusanyuka; kubanga ntuumiddwa erinnya lyo, ayi Mukama Katonda ow'eggye.#Zab 119:111,162, Yer 14:9, Ez 3:1,3, Kub 10:9,10 17Saatuula mu kkuŋŋaaniro ly'abo ab'ebinyumu, so ssaasanyuka, n'atuula nzeka kubanga omukono gwali ku nze, kubanga onzijuzizza obusungu.#Zab 102:7, Kung 3:28 18Obulumi bwange bubeerera ki obw'olubeerera, n'ekiwundu kyange kibeerera ki ekitawonyezeka, kiganira ki okuwonyezebwa? Oliba gye ndi ng'akagga akalimba ng'amazzi agaggwaawo?”#Yob 6:15, Yer 30:15
Katonda addamu Yeremiya
19Mukama kyava ayogera bw'ati nti, “Bw'olikomawo, kale ndikuzza olyoke oyimirire mu maaso gange; era bw'olyawula eby'omuwendo omungi okubiggya mu ebyo ebitagasa, oliba ng'akamwa kange. Balidda gy'oli naye ggwe toddanga gyebali.#Yer 3:14; 15:1 20Era ndikufuula eri abantu bano bbugwe ow'ekikomo aliko enkomera; era balirwana naawe, naye tebalikuwangula, kubanga nze ndi wamu naawe okukulokola n'okukuwonya, bw'ayogera Mukama.#Yer 1:8,18,19; 20:11 21Era ndikuwonya mu mukono gw'ababi, era ndikununula okukuggya mu mukono gw'ab'entiisa.”#Is 49:25
Currently Selected:
Yeremiya 15: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.