1
Yeremiya 15:16
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Ebigambo byo nnabizuula, ne mbirya, era ebigambo byo byali bya ssanyu gye ndi, n'omutima gwange ne gujjula okusanyuka; kubanga ntuumiddwa erinnya lyo, ayi Mukama Katonda ow'eggye.
Compare
Explore Yeremiya 15:16
2
Yeremiya 15:19
Mukama kyava ayogera bw'ati nti, “Bw'olikomawo, kale ndikuzza olyoke oyimirire mu maaso gange; era bw'olyawula eby'omuwendo omungi okubiggya mu ebyo ebitagasa, oliba ng'akamwa kange. Balidda gy'oli naye ggwe toddanga gyebali.
Explore Yeremiya 15:19
3
Yeremiya 15:21
Era ndikuwonya mu mukono gw'ababi, era ndikununula okukuggya mu mukono gw'ab'entiisa.”
Explore Yeremiya 15:21