YouVersion Logo
Search Icon

Yeremiya 14

14
Ekyanda ekikakali
1Ekigambo kya Mukama ekyajja eri Yeremiya nga kikwata ku kyanda.
2“Yuda akungubaga, n'enzigi ze ziyongobera; abantu be banyolwa nga batudde ku ttaka, n'okukaaba kwa Yerusaalemi kulinnye.#Is 3:26, Kung 1:4; 2:8 3N'abakungu baabwe batuma abakozi baabwe emugga; batuuka ku nzizi, ne batasangamu mazzi; baddayo ensuwa zaabwe nga nkalu; ensonyi zibakwata, baswala, babikka ku mitwe gyabwe.#2 Sam 15:30 4Olw'ettaka eryatise, kubanga enkuba tetonnyanga mu nsi, abalimi kyebaava bakwatibwa ensonyi, babikka ku mitwe gyabwe.#Yer 3:3 5Weewaawo, n'empeewo eri ku ttale ezaala, n'ereka omwana gwayo olw'obutabaawo muddo.#Zab 29:9 6N'entulege ziyimirira ku nsozi enjereere, ziwejjawejja olw'empewo ng'ebibe; amaaso gaazo gaziba olw'obutabaawo bimera.”#Yer 2:24
Okusaba Mukama obuyambi
7“Newakubadde obutali butuukirivu bwaffe nga butulumiriza, baako ky'okola, ayi Mukama olw'erinnya lyo, kubanga okudda kwaffe emabega kungi; era twakwonoona.#Zab 25:11 8Ayi, ggwe essuubi lya Isiraeri, omulokozi we mu biro eby'okulabiramu ennaku, wandibeeredde ki ng'omuyise mu nsi, era ng'omutambuze asula ekiro ekimu?#Zab 71:5, Yer 17:13; 50:7 9Wandibeeredde ki ng'omusajja asobeddwa, ng'omusajja ow'amaanyi atayinza kulokola? So nga ggwe, ayi Mukama, oli wakati muffe, naffe tutuumiddwa erinnya lyo; totuleka.”#Kuv 29:45, Is 59:1, Dan 9:18
Katonda alekerawo okuwuliriza okusaba kw'abantu
10Bw'ati bw'agamba Mukama ebikwata ku bantu bano, “Baayagalanga okuwaba, bwe batyo tebaziyizanga bigere byabwe; n'olwekyo Mukama kyava alema okubakkiriza; kaakano anajjukira obutali butuukirivu bwabwe, era anaabonereza ebibi byabwe.”#Kos 8:13; 9:9 11Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Tosabira bantu bano kubeera bulungi.#Yer 7:16 12Bwe banaasiibanga, siiwulirenga kukaaba kwabwe; era bwe banaawangayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebitone, siibakkirizenga: naye ndibazikiriza n'ekitala n'enjala ne kawumpuli.”#Is 1:15, Yer 6:20
Bannabbi ab'obulimba
13Awo ne ndyoka njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda! laba, bannabbi bagamba abantu nti, ‘Temuliraba kitala so temuliba na njala; naye Mukama alibawa emirembe egy'enkalakkalira mu kifo kino.’ ”#Yer 4:10; 6:14, 1 Sam 7:9; 12:23, Zab 99:6; 106:23, Yer 15:19, Ez 14:14 14Awo Mukama n'alyoka aŋŋamba nti, “Bannabbi boogera eby'obulimba mu linnya lyange, saabatuma so saabalagira so ssaayogera nabo. Baabagamba okwolesebwa okw'obulimba n'ebigambo bye baabagamba tebiriimu, wabula obukuusa obw'omu mutima gwabwe.”#Yer 5:31; 23:21; 27:9,15, Ez 13:6, Mat 7:15; 24:24 15“N'olwekyo bw'ati bw'ayogera Mukama ebikwatagana ne bannabbi aboogerera mu linnya lyange so nga saabatuma, naye ne boogera nti, ‘Ekitala n'enjala tebiriba mu nsi eno,’ Ekitala n'enjala bye birizikiriza bannabbi abo.#Yer 23:34 16N'abantu be bategeeza balisuulibwa mu nguudo ez'e Yerusaalemi olw'enjala n'ekitala; so tebaliba na balibaziika, bo ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, ne bawala baabwe.#Zab 79:3 Kubanga ndifuka obubi bwabwe ku bo bennyini.” 17“ Era olibagamba ekigambo kino nti, ‘Muleke amaaso gange gakulukute amaziga emisana n'ekiro, era galeme okulekayo; kubanga omuwala w'abantu bange atamanyi musajja afumitiddwa ekiwundu ekinene, n'olukuba olw'obulumi.’#Yer 8:21; 10:19; 13:17 18Bwe nnaafuluma mu ttale, kale, laba, abattiddwa n'ekitala! era bwe nnaayingira mu kibuga, kale, laba, abo abalwadde olw'enjala! kubanga nnabbi era ne kabona batambulatambula mu nsi, nga bategeeza abantu nabo bye batamanyi.”#Yer 5:31, Ez 7:15
Abantu beegayirira Mukama
19“Ogaanidde ddala Yuda? Emmeeme yo etamiddwa Sayuuni? Lwaki otufumitidde ddala, so nga tewali ddagala lya kutuwonya? Twasuubiranga emirembe, naye ne wataba birungi bye twafuna; n'ebiro eby'okuwonyezebwamu, kale, laba, twajjirwa ekikangabwa!#Yer 8:15; 15:18, Kung 5:22 20Tukkiriza obubi bwaffe, Ayi Mukama, n'obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe, kubanga twakwonoona.#Zab 106:6, Dan 9:5,8 21Totusuula olw'erinnya lyo; tonyoomesa kitiibwa kya nnamulondo yo; jjukira era tomenya ndagaano gye walagaana naffe.#Zab 106:45 22Waliwo mu ba katonda ab'amawanga ayinza okutonnyesa enkuba? Oba eggulu liyinza okuleeta empandaggirize? Si ggwe wuuyo, ayi Mukama Katonda waffe? Kyetunaavanga tuteeka essuubi lyaffe ku ggwe; kubanga ggwe wabikola ebyo byonna.”#Yob 12:9; 38:28, Is 66:2, Yer 19:15, Zek 10:1,2

Currently Selected:

Yeremiya 14: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in