YouVersion Logo
Search Icon

Yeremiya 16

16
Mukama ky'ayagaliza obulamu bwa Yeremiya
1Ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi, 2“Towasanga mukazi, so tozaalira baana ba bulenzi newakubadde ab'obuwala mu kifo kino.” 3Kubanga bwati bw'ayogera Mukama ebikwata ku baana ab'obulenzi n'ab'obuwala abazaalirwa mu kifo kino ne bannyaabwe ababazaala n'ebya bakitaabwe ababaazaalira mu nsi muno. 4Balifa endwadde embi ennyo, tebalikungubagirwa so tebaliziikibwa; baliba ng'obusa ku ngulu ku ttaka, era balimalibwawo n'ekitala n'enjala; n'emirambo gyabwe giriba mmere ya nnyonyi ez'omu bbanga era ya nsolo ez'omu nsi.#Yer 7:33; 14:12; 15:2; 25:33 5“ Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, ‘Toyingira mu nnyumba mwe bakungubaga, so togenda kukuba biwoobe, so tobakaabira; kubanga nzigye emirembe gyange ku bantu bano,’ bw'ayogera Mukama, era mbaggyeeko ekisa n'okusaasira okulungi.#Ez 24:16-23 6Abakulu era n'abato balifiira mu nsi eno, tebaliziikibwa so n'abantu tebalibakungubagira, era tewaliba n'omu alyeemwa oba alyeesala ekiwalata ku lwabwe.#Leev 19:28, Yob 1:20 7Tewaliba awa mukungubazi mmere okumukubagiza olw'okufiirwa, wadde okumuwa eky'okunywa okumubudabuda, ne bw'aliba ng'afiiriddwa kitaawe oba nnyina.#Ma 26:14, Kos 9:4 8So toliyingira mu nnyumba mwe baliira embaga, okutuula nabo, okulya n'okunywa. 9Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti, Laba, ndikomya mu kifo kino mu maaso gammwe nammwe nga mukyali balamu, eddoboozi ery'ebinyumu n'eddoboozi ery'okusanyuka, eddoboozi eryawasa omugole n'eddoboozi ly'omugole.”#Yer 7:34 10“Awo olulituuka bw'olitegeeza abantu bano ebigambo bino byonna, bo ne bakugamba nti, Kiki eky'ogezezza Mukama obubi buno bwonna obunene ku ffe? Oba atulanga ki? Oba kyonoono ki kye twonoonye Mukama Katonda waffe?#Yer 5:19; 13:10 11Kale n'olyoka obagamba nti, ‘Kubanga bajjajjammwe banvaako, bw'ayogera Mukama, ne batambula okugoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza ne bava ku nze, so tebaakwata mateeka gange;#2 Bassek 22:17 12era kubanga mukoze bubi okusinga bajjajjammwe; kubanga, laba, mutambula buli muntu ng'obukakanyavu bw'omutima gwe omubi bwe buli, nga mugaana okumpuliriza;#Yer 3:17; 7:26 13kyendiva mbagoba mu nsi eno ne mu genda mu nsi gye mutamanyanga, mmwe newakubadde bajjajjammwe; era munaaweererezanga eyo bakatonda abalala emisana n'ekiro; kubanga siribalaga kisa n'akatono.’ ”#Ma 4:26-28; 28:36,64,65, Yer 15:14
Okudda okuva mu buwaŋŋanguse
14“Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, nga tekikyayogerwa nti, ‘Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri;’#Yer 23:7,8 15naye nti, ‘Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi ey'obukiikakkono ne mu matwale gonna gye yali abagobedde,’ era ndibakomyawo mu nsi y'ewaabwe gye nnawa bajjajjaabwe.”#Is 43:5,6, Yer 30:3
Ekibonerezo ekijja
16“Laba, nditumya abavubi bangi, bw'ayogera Mukama, era balibavuba; oluvannyuma nditumya abayizzi bangi, era balibayigga okubaggya ku buli lusozi ne ku buli kasozi, ne mu bunnya obw'omu mayinja.#Am 4:2, Kaab 1:15 17Kubanga amaaso gange gatunuulira amakubo gaabwe gonna, tewali kinkisibwa, so n'obutali butuukirivu bwabwe tebukwekebwa maaso gange.#Yob 34:21, Zab 51:9; 90:8, Yer 32:19 18Era ndisasula nga nkubisizaamu emirundi ebiri; obutali butuukirivu bwabwe n'ekibi kyabwe; kubanga bayonoona ensi yange n'emirambo egy'ebintu byabwe eby'ebivve, era bajjuzizza obusika bwange emizizo gyabwe.”#Is 40:2, Ez 43:7-9
Yeremiya yeesabira okwesiga Mukama
19Ayi Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange, era obuddukiro bwange ku lunaku olw'okulabiramu ennaku, eri ggwe amawanga gonna gye galijja nga bava ku nkomerero z'ensi, era balyogera nti, “Bajjajjaffe baasikira bulimba bwereere, birerya, era bigambo ebitaliiko kye bigasa.#2 Sam 22:33, Zab 65:2, Is 25:4; 49:6,22,23, Yer 17:17 20Omuntu ayinza okwekolera bakatonda? Abo bwe batyo si ba katonda!”#Yer 2:11, 1 Kol 8:4 21“N'olwekyo, laba, ndibamanyisa, omulundi guno gwokka, ndibamanyisa obuyinza bwange, era n'amaanyi gange; era balimanya ng'erinnya lyange nze Mukama.”#Yer 33:2

Currently Selected:

Yeremiya 16: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Yeremiya 16