YouVersion Logo
Search Icon

Yeremiya 13

13
Ekimyu eky'olugoye
1Bw'ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda weegulire ekimyu eky'olugoye, okyesibe mu kiwato kyo, so tokinnyika mu mazzi.”#Bik 21:11, Ez 15:4,5 2Awo ne nneegulira ekimyu eky'olugoye, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali, ne nkyesiba mu kiwato kyange. 3Awo ekigambo kya Mukama ne kijja gyendi omulundi ogwokubiri, nti, 4Ddira ekimyu eky'olugoye kye wagula ekiri mu kiwato kyo, osituke ogende ku mugga Fulaati, okikweke eyo mu lwatika oluli mu lwazi. 5Awo ne ŋŋenda ne nkikweka ku mugga Fulaati, nga Mukama bwe yandagira. 6Awo olwatuuka ennaku nnyingi nga ziyiseewo Mukama n'aŋŋamba nate nti, “Situka ogende ku mugga Fulaati oggyeyo ekimyu eky'olugoye kye nnakulagira okukweka eyo.” 7Awo ne ŋŋenda ku mugga Fulaati ne nsima nnenziggya ekimyu eky'olugoye mu kifo mwe nnali nkikwese. Kale, laba, ekimyu eky'olugoye nga kyonoonese, nga tekikyaliiko kye kigasa. 8Awo ekigambo kya Mukama ne kijja nate gyendi nti, 9“Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Bwe ntyo bwe ndizikiriza amalala ga Yuda n'amalala amangi aga Yerusaalemi.#Leev 26:19 10Abantu bano ababi bagaana okuwulira ebigambo byange, era batambulira mu bukakanyavu bw'omutima gwabwe, era bagoberedde bakatonda abalala okubaweerezanga n'okubasinzanga, balibeerera ddala ng'ekimyu eky'olugoye kino ekitaliiko kye kigasa.#Yer 3:17 11Kuba nga ekimyu eky'olugoye bwe kyegatta n'ekiwato ky'omuntu, bwe ntyo nange bwe nneegasse n'ennyumba yonna eya Isiraeri n'ennyumba yonna eya Yuda,” bw'ayogera Mukama, “balyoke babeerenga gye ndi eggwanga era erindetera ettendo era ne kitiibwa: naye ne batayagala kuwulira.#Kuv 19:5, Yer 33:9, Zef 3:20
Ekita ky'omwenge
12“Kyoliva obagamba ekigambo kino nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti, Buli kita kirijjula omwenge.’ Nabo balikugamba nti, Tetumanyi nga buli kita kirijjula omwenge?” 13“Awo n'olyoka obagamba nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ndijjuza obutamiivu abantu bonna abali mu nsi eno, bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi, ne bakabona, ne bannabbi, ne bonna abali mu Yerusaalemi.#Yer 17:20; 18:18; 22:2, Ez 23:33 14Era ndibatandagira omuntu ne munne, bakitaabwe ne batabani baabwe wamu, bw'ayogera Mukama. Sirisaasira so sirisonyiwa so sirikwatibwa kisa, obutabazikiriza.”#Zab 2:9, Yer 19:10,11
Okwewala okwekulumbaza
15Muwulire, mutege amatu; temuba na malala, kubanga Mukama ayogedde. 16Mumuwe Mukama Katonda wammwe ekitiibwa, nga tannaleeta kizikiza era ng'ebigere byammwe tebinnaba kwesittalira ku nsozi ez'ekizikiza; era nga bwe musuubira omusana, n'agufuula ekisiikirize eky'okufa n'aguddugaza okuba ekizikiza ekikutte.#Yos 7:19, Is 5:30; 8:22, Yok 11:10 17Naye bwe mutalikkiriza kuwulira emmeeme yange erikaaba amaziga kyama olw'amalala gammwe; n'amaaso gange galikaaba nnyo amaziga, ne gakulukuta amaziga, kubanga ekisibo kya Mukama kikwatiddwa.#Yer 9:1,18; 14:17, Kung 1:16 18Gamba kabaka ne nnamasole nti, “Mwetoowaze mutuule wansi; kubanga ebiremba byammwe bikkakkanye, n'engule ey'ekitiibwa kyammwe evudde ku mitwe ggyammwe.#2 Bassek 24:12, Yer 22:26, Kung 5:16 19Ebibuga eby'obukiikaddyo biggaddwawo, so tewali wa kubiggulawo, Yuda atwaliddwa yenna nga musibe; yenna atwaliddwa ddala nga musibe.”#Yos 6:1
Katonda alabula
20“Muyimuse amaaso gammwe mulabe abo abava obukiikakkono.” Kiri ludda wa ekisibo kye waweebwa, ekisibo kyo ekirungi?#Yer 1:13,14; 6:22 21Olyogera otya, bwe balikuteekako okukufuga abo ggwe kennyini be wayigiriza okuba mikwano gyo? Obuyinike tebulikukwata ng'omukazi alumwa okuzaala?#Is 13:8 22Era bw'onooyogeranga mu mutima gwo nti, Lwaki ebigambo bino byonna binzijjidde? Bizze olw'okweyongera kw'obutali butuukirivu bwo, engoye zo zibikuddwa, era oboonaabona n'obukambwe.#Yer 5:19, Kung 1:9, Nak 3:5 23Omuwesiyopya ayinza okukyusa olususu lw'omubiri gwe, oba engo eyinza okukyusa amabala gaayo? Kale nammwe temuyinza kukola bulungi abaamanyiira okukola obubi.#Mat 19:26 24Kyendiva mbasaasaanya ng'ebisasiro bwe bisaasaanyizibwa embuyaga ez'omu ddungu.#Zab 83:13 25Guno gwe mugabo gwe nnakugerera, bw'ayogera Mukama; kubanga wanneerabira ne weesiga obulimba.#Yob 20:29, Yer 2:32 26Nange kyendiva mbikkula engoye zo, mu maaso go, n'ensonyi zo zirirabika. 27Nnalaba emizizo gyo, obwenzi bwo, n'obukaba bwo obuyitiridde obw'okwenda kwo, ku nsozi ez'omu ttale. Zikusanze, ayi Yerusaalemi! Kinatwala bbanga ki ggwe okulongoosebwa?#Yer 2:20; 5:8, Ez 24:13

Currently Selected:

Yeremiya 13: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Yeremiya 13