Yeremiya 12
12
Yeremiya abuuza Mukama
1Oli mutuukirivu, ayi Mukama, ne bwe nkwemulugunyiza, naye era nnandibadde mpoza ensonga yange mu maaso go. Lwaki ekkubo ery'ababi liraba omukisa? Lwaki abalimbalimba bakulakulana?#Ezer 9:15, Yob 12:6; 21:7-15, Zab 73:3-12; 92:7, Kaab 1:13, Mal 3:15 2Wabasimba, weewaawo, basimbye emmizi ne bamera; weewaawo, ne babala n'ebibala; oli kumpi na kamwa kaabwe, naye oli wala n'emitima gyabwe.#Is 29:13 3Naye ggwe, ayi Mukama, ommanyi; ondaba n'okema omutima gwange bwe gufaanana gy'oli. Basike ng'endiga ez'okusalibwa, obategekere olunaku olw'okuttirwako.#Zab 17:3; 139:1, 2 Peet 2:12 4Ensi erituusa wa okuwuubala, era omuddo gwonna ogw'oku ttale ne guwotoka? Kuba olw'obubi bw'abo abagirimu, ensolo n'ennyonyi kyeziva zimalibwawo; kubanga abasajja bagamba nti, “Katonda taliraba nkomerero yaffe.”#Zab 107:34, Yer 9:10; 23:10, Kos 4:3, Bar 8:22
Mukama addamu Yeremiya
5“Oba ng'oddukidde wamu n'abatambula n'ebigere, naye ne bakukooyesa, kale oyinza otya okuwakana n'embalaasi? Oba mu nsi ey'emirembe ogudde, olikola otya mu bibira bya Yoludaani?#Yer 49:19, Zek 11:3 6Kubanga era ne baganda bo n'ennyumba ya kitaawo, era nabo bakulimbyerimbye; bonna bakukabirira, tobakkirizanga ne bwe bakugamba ebigambo ebirungi.”#Nge 26:25, Yer 9:4; 11:19,21
Mukama anakuwala olw'abantu be
7“Ndese ennyumba yange, nsudde obusika bwange, mpaddeyo oyo emmeeme yange gw'eyagala ennyo nnyini mu mukono gw'abalabe be.#Yer 11:15 8Obusika bwange bufuuse gye ndi ng'empologoma mu kibira, anyimusirizaako eddoboozi lye; kyenvudde mmukyawa. 9Obusika bwange buli gye ndi ng'ennyonyi eyigga ey'amabala? Ennyonyi eziyigga zimulumbye enjuyi zonna? Mugende mukuŋŋaanye ensolo zonna ez'omu nsiko, muzireete zirye.#Is 56:9, Yer 7:33, Ez 39:17 10Abasumba bangi boonoonye olusuku lwange olw'emizabbibu, balinnyiridde omugabo gwange n'ebigere, omugabo gwange ogusanyusa bagufudde ddungu omutali muntu.#Is 63:18, Yer 2:8; 6:3 11Bagufudde matongo; guwuubala gye ndi nga gulekeddwayo; ensi yonna efuuse matongo, kubanga tewali muntu agissako mwoyo. 12Abanyazi batuuse ku ntikko ze nsozi zonna enjereere ez'omu ddungu; kubanga ekitala kya Mukama kirya okuva ku nkomerero y'ensi okutuuka ku nkomerero y'ensi, tewali kintu ekirina omubiri ekirina emirembe. 13Basiga eŋŋaano, naye bakungudde amaggwa; beerumya bo bennyini, so tebaliiko kye bagasiddwa, era balikwatibwa ensonyi olw'ebikungulwa byabwe, olw'obusungu bwa Mukama.”#Ma 28:38, Is 55:2, Yer 4:8,26, Kung 1:12, Mi 6:15, Kaab 2:13
Mukama by'asuubiza baliraanwa ba Isiraeri
14Bw'ati bw'ayogera Mukama ku bikwata ku baliraanwa bange bonna ababi abakwata obusika bwe nawa abantu bange Isiraeri okubusikira nti, “ Laba, ndibasimbula mu nsi yaabwe, era ndisimbula n'ennyumba ya Yuda wakati mu bo.#Zab 137:7, Ez 25:1-17 15Awo olulituuka bwe ndiba nga mmaze okubasimbula, ndikomawo ne mbakwatirwa ekisa; era ndibakomyawo buli muntu mu busika bwe na buli muntu mu nsi y'ewaabwe.#Yer 48:47; 49:6 16Awo olulituuka bwe balinyiikira okuyiga amakubo g'abantu bange, n'okulayira erinnya lyange nti, ‘Nga Mukama bw'ali omulamu;’ era nga bwe baayigirizanga abantu bange okulayira Baali; kale balizimbibwa wakati mu bantu bange.#Yer 4:2, 1 Peet 2:5 17Naye eggwanga lyonna bwe litalikkiriza kuwulira, awo ndirisimbulira ddala, era ne ndizikiriza, bw'ayogera Mukama.”#Is 60:12
Currently Selected:
Yeremiya 12: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.