1
Yeremiya 13:23
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Omuwesiyopya ayinza okukyusa olususu lw'omubiri gwe, oba engo eyinza okukyusa amabala gaayo? Kale nammwe temuyinza kukola bulungi abaamanyiira okukola obubi.
Compare
Explore Yeremiya 13:23
2
Yeremiya 13:16
Mumuwe Mukama Katonda wammwe ekitiibwa, nga tannaleeta kizikiza era ng'ebigere byammwe tebinnaba kwesittalira ku nsozi ez'ekizikiza; era nga bwe musuubira omusana, n'agufuula ekisiikirize eky'okufa n'aguddugaza okuba ekizikiza ekikutte.
Explore Yeremiya 13:16
3
Yeremiya 13:10
Abantu bano ababi bagaana okuwulira ebigambo byange, era batambulira mu bukakanyavu bw'omutima gwabwe, era bagoberedde bakatonda abalala okubaweerezanga n'okubasinzanga, balibeerera ddala ng'ekimyu eky'olugoye kino ekitaliiko kye kigasa.
Explore Yeremiya 13:10
4
Yeremiya 13:15
Muwulire, mutege amatu; temuba na malala, kubanga Mukama ayogedde.
Explore Yeremiya 13:15