Yeremiya 11
11
Yeremiya ne Katonda ne Yuda (11:1—20:18)
1Ekigambo ekyajja eri Yeremiya nga kiva eri Mukama, 2“Muwulire ebigambo eby'endagaano eno, era oyogere n'abasajja ba Yuda n'abo abali mu Yerusaalemi.#2 Bassek 23:3 3Obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, akolimirwe omusajja yenna atawulira bigambo bya ndagaano eno,#Ma 27:26, Bag 3:10 4gye n'alagira bajjajjammwe ku lunaku lwe nnabaggya mu nsi y'e Misiri, mu kikoomi eky'ekyuma, ne njogera nti Muwulire eddoboozi lyange, mukolenga byonna bwe biri bye mbalagira; bwe mutyo bwe munaabanga abantu bange, nange n'abanga Katonda wammwe,#Leev 26:3,12, Ma 4:20, Yer 7:22,23 5ndyoke nnywezenga ekirayiro kye nnalayirira bajjajjammwe, okubawa ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, nga bwe kiri leero.” Awo ne ndyoka nziramu ne njogera nti, “ Amiina, ayi Mukama.”#Kuv 3:8, Ma 7:12,13, Zab 105:9,10
Katonda bye yalagira Yeremiya okulangirira
6Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Langirira ebigambo bino byonna mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi ng'oyogera nti, Muwulire ebigambo eby'endagaano eno era mubikole. 7Kubanga nnalabulira ddala bajjajjammwe ku lunaku lwe nnabaggya mu nsi y'e Misiri; ne mbalabula obutasalako n'okutuusa leero, nga njogera nti, Mugondere eddoboozi lyange.#2 Byom 36:15, Yer 7:25 8Naye ne batagonda so tebaatega kutu kwabwe, naye ne batambulira buli muntu mu bukakanyavu bw'omutima gwe omubi; kyennava mbaleetako ebigambo byonna eby'endagaano eno, gye nnabalagira okukolanga, naye ne batabikola.”#Yer 3:17; 7:26
Obujeemu
9Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “ Waliwo okwekobaana mu basajja ba Yuda ne mu abo ababeera mu Yerusaalemi. 10Bakyuse okudda mu butali butuukirivu bwa bajjajjaabwe abaagaana okuwulira ebigambo byange; era bagoberedde bakatonda abalala okubaweerezanga, ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda bamenye endagaano yange gye nnalagaana ne bajjajjaabwe.”#Ma 31:16,20, Zab 78:8; 79:8, Ez 20:18 11N'olwekyo bwati bwayogera Mukama nti, Laba, ndibaleetako obubi bwe bataliyinza kuwona; era balinkaabirira, naye siribawuliriza.#Nge 1:28, Ez 8:18 12Awo ebibuga bya Yuda n'abo abali mu Yerusaalemi baligenda ne bakaabirira bakatonda be bootereza obubaane; naye tebasobola n'akamu kubalokola mu biro mwe balabira ennaku.#Yer 2:28 13Ba katonda bammwe bafuuse bangi, nga ebibuga byammwe nga bwe byenkana obungi, ayi Yuda; era ng'enguudo ez'e Yerusaalemi bwe zenkana obungi, bwe mutyo bwe muzimbye ebyoto ekintu ekikwasa ensonyi, ebyoto eby'okwoterezangako obubaane eri Baali.#Kos 9:10 14“Kale ggwe tosabiranga bantu bano, so tobayimusirizanga kukaaba newakubadde okusaba ku lwabwe, kubanga siribawuliriza bwe balinkoowoola mu biro mwe balirabira ennaku.”#Yer 7:16
15“Muganzi wange alina buyinza ki mu nnyumba yange nga akoze ebikolwa ebiswaza? Ebirayiro n'okuwaayo omubiri nga ssaddaaka biyinza okukyusa okuzikirira kwo? Oyinza okusanyuka olw'ebyo?#Nge 2:14 16Mukama yakutuuma erinnya nti, Omuzeyituuni ogwera, omulungi nga guliko ebibala ebirungi; naye n'eddoboozi ery'oluyoogaano olunene agukumyeko omuliro, amakoola gagwo gayidde n'amatabi gaagwo gamenyese.#Zab 52:8, Bar 11:17,20 17Kubanga Mukama w'eggye eyakusimba, akulangiriddeko obubi, olw'obubi bw'ennyumba ya Isiraeri n'obwennyumba ya Yuda bwe baakola ne bansunguwaza nga bootereza Baali obubaane.”#Yer 2:21; 7:18
Olukwe olw'okutta Yeremiya
18Awo Mukama n'akimmanyisa ne nkimanya, kale n'olyoka ondaga ebikolwa byabwe. 19Naye nali ng'omwana gw'endiga omuwombeefu ogutwalibwa okuttibwa; so ssaamanya nga bansalidde enkwe, nga boogera nti, “Tuzikirize omuti wamu n'ebibala byagwo, tumuzikirize okuva mu nsi ey'abalamu, erinnya lye baleme okulijjukira nate.#Zab 83:4, Is 53:7,8, Yer 18:18, Kung 3:60 20Naye, ayi Mukama w'eggye, asala emisango egy'ensonga, akema emmeeme n'omutima, ka ndabe eggwanga ly'oliwalana ku bo, kubanga gwe ntegeezezza ensonga zange.”#1 Sam 16:7, Zab 7:9, Yer 15:15; 17:10; 20:12, Kub 2:23 21Mukama kyava ayogera bw'ati eby'abasajja aba Anasosi abanoonya obulamu bwo nga boogera nti, “Toyogereranga mu linnya lya Mukama, omukono gwaffe guleme okukutta,”#Yer 12:6, Mat 13:57 22Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati nti, “Laba, ndibabonereza; abavubuka bammwe balifa kitala; batabani baabwe ne bawala baabwe balifa njala; 23so tewaliba n'omu alifikkawo. Kubanga ndireeta obubi ku basajja abe Anasosi, mu mwaka ogw'okubabonererezaamu.”
Currently Selected:
Yeremiya 11: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.