YouVersion Logo
Search Icon

Yeremiya 10

10
Okusinza Katonda omulamu n'okusinza ebifaananyi
1Muwulire ekigambo Mukama ky'abagamba, mmwe mmwenna ennyumba ya Isiraeri, 2bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Temuyiganga mpisa za mawanga malala, so temweraliikiriranga bubonero bwa ku ggulu; kubanga amawanga gabweraliikirira. 3Kubanga empisa ez'amawanga, nkyamu. Omuti okuva mu kibira gutemebwa, era ne gukolebwako n'embazzi, n'omukono gw'omukozi.#Is 40:19,20; 41:7 4Abasajja baguyonja ne ffeeza ne zaabu; bagukomerera n'enninga n'ennyondo gulemenga okusagaasagana. 5Ebifaananyi byabwe bifaanana obufaananyi obukanga obuteekebwa mu nnimiro era tebyogera, basitula bisitule kubanga tebiyinza kutambula. Temubityanga; kubanga tebiyinza kukola bubi so n'okukola obulungi tekuli mu byo.”#Zab 115:5,7, Is 41:23; 46:7, Kaab 2:18,19 6Tewali afaanana ggwe, ayi Mukama; ggwe mukulu, n'erinnya lyo kkulu, lya buyinza.#Kuv 15:11, Zab 86:8,10 7Ani atandikutidde, ayi Kabaka w'amawanga? Kubanga kukugwanira ggwe; kubanga mu bagezigezi bonna ab'amawanga ne mu kitiibwa#Yer 5:22, Kub 15:4 kyabwe kyonna ekya bakabaka temuli akufaanana ggwe. 8Naye bo bonna wamu tebategeera era basirusiru; bayinza kuyigira ki ku bifaananyi byabwe eby'emiti? 9Ffeeza eyaweesebwa okuba ey'empewere eyaggibwa e Talusiisi, ne zaabu eyava e Yufazi, omulimu ogwa fundi, n'ogw'emikono gy'omuweesi wa zaabu, abakugu; babyambaza kaniki n'olugoye olw'effulungu okuba ebyambalo byabyo; byonna mulimu gw'abasajja abakalabakalaba.#1 Bassek 10:22, Zab 115:4, Is 40:19 10Naye Mukama ye Katonda yennyini ow'amazima; oyo ye Katonda omulamu, era Kabaka ataggwaawo. Ensi ekankana olw'obusungu bwe, so n'amawanga tegayinza kugumiikiriza kunyiiga kwe.#Zab 42:2
11Bwe muti bwe muba mubagamba nti, “Bakatonda abataakola ggulu na nsi, abo balibula era balizikirizibwa okuva mu nsi n'okuva wansi w'eggulu.”#Zab 96:5, Is 2:18
Oluyimba olw'okutendereza Katonda
12 # Yer 51:15,19 Ye yakola ensi olw'obuyinza bwe, yanyweza ebintu byonna olw'amagezi ge, era yabamba eggulu olw'okutegeera kwe;#Lub 1:1, Zab 104:5, Nge 3:19 13Bw'aleeta eddoboozi lye, ne waba oluyoogaano olw'amazzi mu ggulu, era alinnyisa olufu okuva ku nkomerero z'ensi; akolera enkuba enjota, era aggya embuyaga mu mawanika ge.#Yob 5:10; 38:34, Zab 135:7, Yer 14:22 14Buli muntu afuuse ng'ensolo, so talina kumanya; buli muweesi wa zaabu ensonyi zimukwata olw'ekifaananyi kye ekyole; kubanga ekifaananyi kye ekisaanuuse bulimba, so temuli mukka mu byo.#Is 42:17, Bar 1:22 15Tebiriiko kye bigasa, mulimu gwa bulimba; mu kiseera eky'okubonerezebwa kwabyo birizikirira. 16Obutafaanana ebyo ye gwe mugabo gwa Yakobo; kubanga oyo ye mubumbi wa byonna; era Isiraeri kye kika eky'obusika bwe, Mukama w'eggye lye linnya lye.#Ma 32:9, Zab 16:5, Is 47:4, Yer 50:34
Okutwalibwa mu busibe kubindabinda
17Kuŋŋaanya ebintu byo okuva ku ttaka, ggwe atuula mu kibuga ekizingizibwa.#Yer 6:1, Ez 12:13 18Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Laba, ndivuumuula abatuula mu nsi, ne mbaggyamu mu biro bino, era ndireeta okunyolwa kubo balyoke bakuwulire.”#1 Sam 25:29 19Zinsanze olw'ekiwundu kyange! Ekiwundu kyange kinnuma nnyo, naye ne njogera nti, “Mazima buno bwe buyinike bwange, era kiŋŋwanira okubugumiikiriza.”#Yer 14:17 20Eweema yange ezikiriziddwa, n'emigwa gyange gyonna gikutuse; abaana bange banvuddemu, so tebaliiwo; tewakyali wa kubamba weema yange, newakubadde ow'okussaawo entiimbe zange.#Is 54:2, Yer 4:20; 31:15 21Kubanga abasumba basirusiru, so tebabuuzizza Mukama; kyebavudde balema okulaba omukisa, n'ebisibo byabwe byonna bisaasaanye.#Yer 23:1, Ez 34:2,5,6 22Eddoboozi ery'ekigambo kye babuulira, laba, lijja, n'okusasamala okunene okuva mu nsi ey'obukiikakkono, okufuula ebibuga bya Yuda amatongo, ekisulo eky'ebibe.#Yer 1:13; 9:11 23Ayi Mukama, mmanyi ng'ekkubo ery'omuntu teriri mu ye yennyini; tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.#Nge 10:24, Dan 5:23 24Ayi Mukama, ombuulire, naye mpola; si lwa busungu bwo oleme okunzikiriza.#Zab 6:1, Yer 30:11 25Fukira ddala ekiruyi kyo ku b'amawanga abatakumanyi, ne ku bika ebitakoowoola linnya lyo; kubanga balidde Yakobo, weewaawo, bamulidde era bamumize, bamumazeewo, bazisizza ekifo mw'abeera.#Zab 79:6,7, Yer 8:6

Currently Selected:

Yeremiya 10: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Yeremiya 10