Obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, akolimirwe omusajja yenna atawulira bigambo bya ndagaano eno, gye n'alagira bajjajjammwe ku lunaku lwe nnabaggya mu nsi y'e Misiri, mu kikoomi eky'ekyuma, ne njogera nti Muwulire eddoboozi lyange, mukolenga byonna bwe biri bye mbalagira; bwe mutyo bwe munaabanga abantu bange, nange n'abanga Katonda wammwe