YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 63

63
1Ani ono ava mu Edomu,
ng'alina ebyambalo ebinnyike mu ddagala ng'ava e Bozula?
ono alina engoye ez'ekitiibwa,
ng'atambuza amaanyi ge amangi?
Nze ayogera obutuukirivu,
ow'amaanyi okulokola.#Zab 68:7, Is 34:6
2Lwaki oyambadde ebyambalo ebimyufu,
engoye zo ne zifaanana oyo asambira mu ssogolero?#Kub 14:20; 19:13, Yo 3:13
3Nsambye essogolero omu nzekka;
so ku mawanga tekwali n'omu eyali awamu nange,
weewaawo, nabasamba mu busungu bwange
ne mbalinnyirira mu kiruyi kyange;
n'omusaayi ogw'obulamu bwabwe gumansukidde ku byambalo byange
era engoye zange zonna zijjudde amabala.
4Kubanga olunaku olw'okuwalanirako eggwanga lwali mu mutima gwange,
n'omwaka ogw'abanunule bange gutuuse.#Is 34:8
5Ne mmagamaga ne wataba muyambi;
ne nneewuunya obutabaawo wa kuwanirira;
omukono gwange nze kyegwava gundeetera obulokozi;
n'ekiruyi kyange kye kyampanirira.#Is 59:16
6Ne nninnyirira amawanga wansi mu busungu bwange,
ne mbatamiiza ku kiruyi kyange,
ne nfuka ku ttaka omusaayi ogw'obulamu bwabwe.#Is 49:26
7Naayogera ku bikolwa bya Mukama eby'ekisa ekingi
n'amatendo ga Mukama,
nga byonna bwe biri by'atuwadde Mukama;
n'obulungi obungi obuli eri ennyumba ya Isiraeri,
bw'abawadde ng'okusaasira kwe bwe kuli
era ng'olufulube bwe luli olw'ebikolwa bye eby'ekisa ekingi.#Zab 145:7
8Kubanga yayogera nti Mazima be bantu bange,
abaana abatalikuusakuusa,
kale n'aba mulokozi waabwe.
9Yabonyaabonyezebwa mu kubonyaabonyezebwa kwabwe kwonna,
ne malayika ali mu maaso ge yabalokolanga;
mu kwagala kwe ne mu kusaasira kwe yabanunula;
n'abasitulanga n'abeetikkanga ennaku zonna ez'edda.#Ma 7:7,8; 32:10-12, Balam 10:16
10Naye ne bajeema
ne banakuwaza Omwoyo gwe omutukuvu;
kyeyava akyuka okuba omulabe waabwe,
n'alwana nabo ye yennyini.#Zab 78:17,40,56, Ez 20:8, Bik 7:51, Bef 4:30
11Awo n'alyoka ajjukira ennaku ez'edda,
Musa n'abantu be,
ng'ayogera nti Ali ludda wa oyo eyabalinnyisa ng'abaggya mu nnyanja
wamu n'abasumba b'endiga ze?
Ali ludda wa oyo eyateeka Omwoyo gwe omutukuvu
wakati mu bo?#Kuv 14:19-22, Zab 77:11-20
12eyatambuzanga omukono gwe ogw'ekitiibwa
awali omukono ogwa ddyo ogwa Musa?
eyayawulamu amazzi mu maaso gaabwe
okwekolera erinnya eritaliggwaawo?#Nek 9:10
13Eyabayisa mu buziba,
ng'embalaasi mu ddungu,
obuteesittala?
14Ng'ente bwe ziba ezikka mu kiwonvu,
Omwoyo gwa Mukama gwabawummuzanga bwe gutyo;
bwe watwala bw'otyo abantu bo
okwekolera erinnya ery'ekitiibwa.#Kubal 10:33
15Tunula ng'oyima mu ggulu,
olabe ng'oyima mu nnyumba ey'obutukuvu bwo n'ekitiibwa kyo;
buli ludda wa obunyiikivu bwo n'ebikolwa byo eby'amaanyi?
Okwagala kw'emmeeme yo n'okusaasira kwo
kuziyizibwa gye ndi.#Ma 26:15, Is 59:17
16Kubanga ggwe Kitaffe,
newakubadde nga Ibulayimu tatumanyi
so ne Isiraeri nga tatukkiriza;
ggwe, ayi Mukama, ggwe Kitaffe;
Omununuzi waffe okuva emirembe n'emirembe lye linnya lyo.#Ma 32:6
17Ayi Mukama, lwaki ggwe okutukyamya mu makubo go
n'okakanyaza omutima gwaffe obutakutya?
Komawo ku lw'abaddu bo,
ebika eby'obusika bwo.#Zab 145:7
18Abantu bo abatukuvu baabulina kaseera buseera;
abalabe baffe balinnyiridde awatukuvu wo.
19Tufuuse ng'abo b'otofuganga;
ng'abo abatatuumibwanga linnya lyo.

Currently Selected:

Isaaya 63: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in