Naayogera ku bikolwa bya Mukama eby'ekisa ekingi
n'amatendo ga Mukama,
nga byonna bwe biri by'atuwadde Mukama;
n'obulungi obungi obuli eri ennyumba ya Isiraeri,
bw'abawadde ng'okusaasira kwe bwe kuli
era ng'olufulube bwe luli olw'ebikolwa bye eby'ekisa ekingi.