Isaaya 62
62
1Ku lwa Sayuuni kyendiva nnema okusirika
ne ku lwa Yerusaalemi kyendiva nnema okuwummula,
okutuusa obutuukirivu bwe lwe bulifuluma ng'okumasamasa,
n'obulokozi bwe ng'ettabaaza eyaka.#Nge 4:18
2Kale amawanga galiraba obutuukirivu bwo,
ne bakabaka bonna ekitiibwa kyo;
awo olituumibwa erinnya eriggya
akamwa ka Mukama lye kalituuma.#Zab 98:2, Kub 2:17; 3:12
3Era oliba ngule ya bulungi mu mukono gwa Mukama,
n'enkuufiira ey'obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo.#Zek 9:16
4Toliyitibwa nate lwa kubiri nti Alekeddwa;
so n'ensi yo teriyitibwa nate nti Eyazika;
naye oliyitibwa nti Gwe nsanyukira,
n'ensi yo eriyitibwa nti Eyafumbirwa;
kubanga Mukama akusanyukira,
n'ensi yo erifumbirwa.#Is 54:6-7, Mal 3:12, 1 Peet 2:10
5Kuba omulenzi nga bw'awasa omuwala,
bwe batyo batabani bo bwe balikuwasa;
era ng'awasa omugole bw'asanyukira omugole,
bw'atyo Katonda wo bw'alikusanyukira.#Is 65:19
6Ntadde abakuumi ku bbugwe wo,
ggwe Yerusaalemi;
tebalisirika n'akatono emisana n'ekiro;
mmwe abajjukiza ba Mukama,
temuwummulanga,#Is 52:8
7so temumuganyanga kuwummula,
okutuusa lw'alinyweza n'afuula Yerusaalemi
okuba ettendo mu nsi.#Is 60:18, Zef 3:20
8Mukama alayidde omukono gwe ogwa ddyo
n'omukono ogw'amaanyi ge
nti, “Mazima siriwaayo nate eŋŋaano yo
okuba emmere y'abalabe bo;
so ne bannamawanga tebalinywa mwenge gwo
gw'otawaanidde,#Is 65:21,22, Yer 5:17
9naye abaagikungula be baligirya
ne batendereza Mukama;
n'abo abaagunoga be baligunywera
mu mpya ez'omu watukuvu wange.”#Ma 14:23,26
10Muyite, muyite mu nzigi;
mulongoose ekkubo ery'abantu;
muzimbe, muzimbe, oluguudo,
mulondemu amayinja;
muyimusize amawanga ebendera.#Is 11:10; 40:3; 57:14
11Laba, Mukama alangiridde
ku nkomerero y'ensi
nti, “Mugambe omuwala wa Sayuuni
nti, Laba, obulokozi bwo bujja;
laba empeera ye eri naye
n'okusasula kwe kuli mu maaso ge.”#Is 40:10, Zek 9:9, Mat 21:5
12Era balibayita nti Bantu batukuvu,
Banunule ba Mukama;
naawe oliyitibwa nti Eyanoonyezebwa,
Kibuga ekitalekebwa.#61:6
Currently Selected:
Isaaya 62: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.