Isaaya 64
64
1Singa oyuzizza eggulu n'okka wansi,
ensozi ne zikankana mu maaso go,#Zab 144:5, Mi 1:4
2ng'omuliro bwe gukwata ebisaka,
ng'omuliro bwe gweseza amazzi;
okutegeeza abalabe bo erinnya lyo,
amawanga gakankanire mu maaso go!#Yos 2:9,10
3Bwe wakola eby'entiisa bye tutasuubiranga,
wakka, ensozi ne zikankana mu maaso go.
4Kubanga obw'edda abantu tebaawuliranga
so n'okutu tekubategeezanga
so n'eriiso terirabanga Katonda
wabula ggwe akolera omulimu oyo amulindirira.#Zab 31:19, 1 Kol 2:9
5Osisinkana n'oyo asanyuka n'akola eby'obutuukirivu,
abo abakujjukira mu makubo go;
laba, wasunguwala naffe ne twonoona;
edda twabeeranga mu ebyo, n'okulokoka tulirokoka?
6Kubanga fenna tufuuse ng'atali mulongoofu,
n'ebikolwa byaffe byonna eby'obutuukirivu biriŋŋaanga ekyambalo ekikongedde;
era fenna tuwotoka ng'olulagala;
n'obutali butuukirivu bwaffe bututwalira ddala ng'empewo.#Zab 90:5,6
7So tewali asaba linnya lyo,
eyeekakaabiriza okukukwatako:
kubanga otukisizza amaaso go
n'otumalawo olw'obutali butuukirivu bwaffe.#Kos 7:7
8Naye kaakano, ayi Mukama, ggwe Kitaffe;
ffe tuli bbumba, naawe mubumbi waffe;
naffe fenna tuli mulimu gwa mukono gwo.#Is 45:11; 63:16, Bar 9:20,21
9Tosunguwala nnyo nnyini, ayi Mukama,
so tojjukira butali butuukirivu ennaku zonna,
laba, tunula, tukwegayiridde, ffe fenna tuli bantu bo.#Zab 74:1,2; 79:8, Is 57:16
10Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse ddungu,
Sayuuni kifuuse ddungu,
Yerusaalemi matongo.#Nek 1:3; 2:3,5,11, Kos 2:15
11Ennyumba yaffe entukuvu ennungi,
bajjajjaffe mwe baakutendererezanga,
eyokeddwa omuliro;
n'ebintu byaffe byonna eby'okwesiima bifaafaaganye.#2 Bassek 25:9, Kag 1:9; 2:3
12Olizibiikiriza ebyo nga bimaze okubaawo, ayi Mukama?
Olisirika n'otubonyaabonya nnyo nnyini?#Zek 1:12
Currently Selected:
Isaaya 64: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.