YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 44

44
1Naye kaakano wulira, ggwe Yakobo omuweereza wange,
ne Isiraeri gwe nnalonda!#Is 41:8
2bw'atyo bw'ayogera Mukama eyakukola
n'akubumba okuva mu lubuto, anaakuyambanga,
nti, Totya, ggwe Yakobo omuweereza wange;
naawe Yesuluni gwe nnalonda.#Ma 32:15, Is 49:1,5, Bag 1:15
3Kubanga ndifuka amazzi ku ttaka eririna ennyonta
n'emigga ku ttaka ekkalu;
ndifuka omwoyo gwange ku zzadde lyo
n'omukisa gwange ku nda yo:#Yo 2:28
4era baliroka mu muddo ogumeze awali amazzi,
ng'enzingu ku mabbali g'emigga.#Zab 1:3
5Walibaawo agamba nti, “Nze ndi wa Mukama;”
n'omulala alyetuuma erinnya lya Yakobo;
n'omulala aliwandiika ku mukono gwe nti wa Mukama,
ne yeetuuma erinnya lya Isiraeri.#Is 14:1
6Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Kabaka wa Isiraeri,
era omununuzi we Mukama ow'eggye
nti Nze ndi wa lubereberye era nze ndi wa nkomerero;
so tewali Katonda wabula nze#Is 41:4
7Era ani afaanana nga nze? Akirangirire,
leka akintegeeze,
Ani yalangirira okuva edda ebyo ebinaabaawo?
Kale batubuulire ebinaabaawo#Is 41:26,27
8Temutya so temutekemuka;
ssaakirangirira ne ntegeeza ebigenda okubaawo?
Nnammwe muli bajulirwa bange.
Eriyo Katonda omulala okuggyako nze?
Tewali Lwazi; nze sirina lwe mmanyi.#Ma 4:35,39; 32:39, Is 30:29, Yo 2:27
9Abo abakola ebifaananyi ebyole bonna tebaliimu nsa; n'ebintu byabwe ebibasanyusa okukola tebirina kye bigasa; n'abajulirwa baabwe tebalaba so tebamanyi; balyoke bakwatibwe ensonyi.#Is 41:24,29 10Ani eyakola katonda oba eyasaanuusa ekifaananyi ekyole ekitaliiko kye kigasa?#Kaab 2:18 11Laba, banne bonna balikwatibwa ensonyi; n'abakozi nabo bantu buntu; bonna bakuŋŋaanyizibwe wamu, bayimirire; balitya balikwatirwa wamu ensonyi.#Zab 115:8 12Omuweesi ng'aweesa embazzi n'agiyisa mu manda n'agisennyenta n'ennyondo n'agisaaza n'omukono gwe ogw'amaanyi: weewaawo, ng'alumwa enjala amaanyi ge ne gaggwaawo; nga tanywa ku mazzi n'ayongobera. 13Omubazzi ng'aleega omugwa; ng'akiramba n'ekkalaamu; ng'akisaanya n'eranda n'akiramba kyonna n'ekyuma ekigera, n'akifaananya ekifaananyi ky'omuntu, ng'obulungi bw'omuntu bwe buli, okutuulanga mu nnyumba. 14Nga yeetemera emivule n'atwala enzo n'omuyovu, era yeenywerezaako ogumu ku miti egy'omu kibira: ng'asimba enkanaga enkuba n'egimeza. 15Awo eriba ya nku eri omuntu; n'agitwalako n'ayota; weewaawo, ng'agikoleeza n'ayokya omugaati: weewaawo, ng'akola katonda n'akisinza; ng'akola ekifaananyi ekyole n'akivuunamira. 16Ekitundu kyakyo ng'akyokya mu muliro; ku kitundu kyakyo kw'aggya okulya ennyama; ng'ayokya njokye n'akkuta: weewaawo, ng'ayota n'ayogera nti Owa, mbugumye, ndabye omuliro: 17n'ekitundu kyakyo ekifisseeko ng'akifuula katonda, ekifaananyi kye ekyole: ng'akivuunamira n'asinza n'akyegayirira n'ayogera nti Mponya; kubanga ggwe katonda wange. 18Tebamanyi so tebalowooza: kubanga azibye amaaso gaabwe n'okuyinza ne batayinza kulaba; n'emitima gyabwe n'okuyinza ne batayinza kutegeera. 19So tewali ajjukira, so tewali kumanya newakubadde okutegeera n'okwogera n'ayogera nti Ekitundu kyakyo nkyokezza mu muliro, weewaawo, era nsiise omugaati ku manda gaakyo; njokezza ennyama ne ngirya: ate ekitundu kyakyo ekifisseeko n'akifuula eky'omuzizo? N'avuunamira ekisiki ky'omuti?#Ma 27:15 20Alya evvu: omutima ogwalimbibwa gumukyamizza n'okuyinza n'atayinza kuwonya bulamu bwe newakubadde okwogera nti Eky'obulimba tekiri mu mukono gwange ogwa ddyo?#Yob 13:12, Zab 144:8, Bar 1:25
21Ebyo bijjukire, ggwe Yakobo;
naawe Isiraeri, kubanga ggwe muweereza wange;
nze nnakubumba; ggwe muweereza wange;
ggwe Isiraeri, sirikwerabira.
22Njezeewo ebyonoono byo ne bivaawo ng'ekire,
n'ebibi byo ne bivaawo ng'olufu;
komawo gye ndi; kubanga nnakununula.#Is 43:25
23Yimba, ggwe eggulu, kubanga Mukama ye akikoze;
mwogerere waggulu, mmwe enjuyi eza wansi ez'ensi;
mubaguke okuyimba, mmwe ensozi,
ggwe ekibira na buli muti ogulimu!
kubanga Mukama yanunula Yakobo
era alyegulumiriza mu Isiraeri.#Is 49:3,13; 55:12
24Bw'atyo bw'ayogera Mukama, omununuzi wo,
era eyakubumba okuva mu lubuto,
Nze Mukama akola byonna;
abamba eggulu nzekka;
ayanjuluza ensi; ani eyali awamu nange?
25atta obubonero obw'abalimba
era afuula abalogo abasirusiru;
akyusa abagezigezi okudda emabega,
n'amagezi gaabwe okuba obusirusiru;#Is 19:3
26anyweza ekigambo eky'omuweereza we
n'atuukiriza okuteesa kw'ababaka be;
ayogera ku Yerusaalemi nti, “Kirituulwamu;”
ne ku bibuga bya Yuda nti, “Birizimbibwa,”
nange ndizzaawo ebifo byamu ebyazika;#2 Byom 36:22,23, Yer 32:15,44
27agamba obuziba nti Kalira,
nange ndikaliza emigga;#Is 51:10
28ayogera ku Kuulo nti, “Musumba wange,
era alituukiriza bye njagala byonna;”
n'okwogera ne njogera ku Yerusaalemi nti, “ Kirizimbibwa;”
era agamba Yeekaalu nti, “Omusingi gwo gulizimbibwa.”#2 Sam 5:2, Ezer 1:1-3

Currently Selected:

Isaaya 44: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in