YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 43

43
Essuubi ly'okuzza Isiraeri obuggya
1Naye kaakano bw'atyo bw'ayogera Mukama
eyakutonda, ggwe Yakobo,
era eyakubumba, ggwe Isiraeri,
nti, “Totya, kubanga nkununudde,
nakuyita erinnya lyo, oli wange.#Lub 32:28
2Bw'onooyitanga mu mazzi, nnaabeeranga naawe;
ne mu migga, tegirikusaanyawo;
bw'onootambulanga okuyita mu muliro, toosiriirenga;
so n'omuliro tegulyakira ku ggwe.#Zab 66:12, Dan 3:25,27
3Kubanga nze ndi Mukama Katonda wo,
Omutukuvu wa Isiraeri, omulokozi wo;
n'awaayo Misiri okuba ekinunulo kyo,
Kuusi ne Seba ku lulwo.#Is 45:14
4Kubanga wali wa muwendo mungi mu maaso gange,
era wa kitiibwa, nange nnakwagala;
kyendiva mpaayo abasajja ku lulwo
n'amawanga ku lw'obulamu bwo.
5Totya; kubanga nze ndi wamu naawe;
ndireeta ezzadde lyo okuliggya ebuvanjuba
ne nkukuŋŋaanya okuva ebugwanjuba;#Zab 107:3, Is 49:12, Yer 30:10,11
6ndigamba obukiikakkono nti, Waayo b'olina;
n'obukiikaddyo nti, Tobagaanira;
leeta batabani bange okuva ewala
ne bawala bange okuva ku nkomerero y'ensi;
7buli muntu eyatuumibwa erinnya lyange
era gwe nnatondera ekitiibwa kyange;
gwe nnabumba, gwe nnatonda.”
8Fulumya abo abalina amaaso naye nga bazibe,
abaggavu b'amatu abalina amatu.#Is 42:19
9Amawanga gonna gakuŋŋaanyizibwe wamu
n'abantu bajje;
ani ku bo ayinza okubuulira ekyo
n'atulaga ebyasooka okubaawo?
Leka baleete abajulizi baabwe okukakasa nti baali batuufu,
oba abawulira bagambe nti, “ Bya mazima.”#Is 41:1,21,22
10Mmwe muli bajulirwa bange, bw'ayogera Mukama,
n'omuweereza wange gwe nnalonda;
mulyoke mumanye munzikirize
mutegeere nga nze nzuuyo;
tewali Katonda eyabumbibwa okusooka nze,
so tewaliba alinziririra.#Is 41:4; 44:8
11Nze, nze mwene, nze Mukama;
so tewali mulokozi wabula nze.#Is 45:21, Kos 13:4
12Nze n'abuulira era n'alokola era n'alaga,
so tewabanga mu mmwe katonda mulala;
kye mubeeredde abajulirwa bange, bw'ayogera Mukama.
13Weewaawo, okuva mu nnaku ez'edda, Nze nzuuyo;
so tewali ayinza okuwonya omuntu mu mukono gwange;
Bwe nkola omulimu, ani okuguziyiza?#Zab 90:2, Is 14:27, Yok 8:58, Yob 9:12
14Bw'atyo bw'ayogera Mukama,
omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isiraeri,
nti Ku lwammwe n'atuma e Babbulooni,
era ndibaserengesa bonna ng'abadduse,
be Bakaludaaya, mu byombo eby'okusanyuka kwabwe.#Is 47:1
15Nze ndi Mukama, Omutukuvu wammwe,
Omutonzi wa Isiraeri, Kabaka wammwe.
16Bw'atyo bw'ayogera Mukama,
akuba oluguudo mu nnyanja
n'ekkubo mu mazzi ag'amaanyi;#Kuv 14:21,22, Zab 77:19, Is 51:10
17afulumya eggaali n'embalaasi,
eggye n'obuyinza;
bagalamira wamu, tebaligolokoka;
bazikiridde, bazikidde ng'enfuuzi;#Kuv 14:9, Zab 76:6
18nti Temujjukira ebyasooka okubaawo,
so temulowooza bigambo bya dda.#Yer 16:14
19Laba, nkola ekintu ekiggya;
kaakano kitandise okulabika, temukiraba?
ndikuba oluguudo ne mu lukoola,
ne ndeeta emigga mu ddungu.#Is 35:8; 41:18; 48:21, Kub 21:5
20Ensolo ez'omu nsiko zirinzisaamu ekitiibwa,
ebibe ne bamaaya;
kubanga ngaba amazzi mu lukoola
n'emigga mu ddungu,
okunywesa abantu bange, abalonde bange;#Is 49:10
21abantu be nneebumbira nzekka
boolesenga ettendo lyange.#Zab 79:13, 1 Peet 2:9
22Naye tonkaabiranga, ggwe Yakobo;
naye wantamwa, ggwe Isiraeri.
23Tondeetedde ndiga ez'ebiweebwayo ebyokebwa;
so tonzisaamu kitiibwa na ssaddaaka zo.
Sikukaluubirizanga nga nkusaba ebiweebwayo,
wadde okukukooya n'obubaane.#Am 5:25, Mi 6:3
24Tonguliranga mmuli mpoomerevu na ffeeza,
so tonzikusanga na masavu ga ssaddaaka zo;
naye ggwe onkoyesezza n'ebibi byo,
n'onteganya n'obutali butuukirivu bwo.#Yer 6:20
25Nze, nze mwene, nze nzuuyo
asangula ebyonoono byo ku lwange nze;
so sirijjukira bibi byo.#Is 44:22, Ez 36:25,26
26Njijukiza; tuwoze ffembi;
leeta ensonga yo olyoke oweebwe obutuukirivu.#Is 1:18
27Kitaawo eyasooka yayonoona
n'abawolereza bo bansobya.#Yer 5:31, Ez 16:3
28Kyendiva nswaza abakulu ab'omu watukuvu,
era ndiwaayo Yakobo okuzikirizibwa ne Isiraeri okuswazibwa.#Yer 24:9, Kung 2:2

Currently Selected:

Isaaya 43: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in