YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 45

45
Katonda okukozesa Kuulo
1Bw'atyo Mukama bw'agamba oyo gwe yafukako amafuta, Kuulo,
gwe nkutte ku mukono gwe ogwa ddyo,
okujeemula amawanga mu maaso ge,
era ndisumulula ebiwato bya bakabaka;
okuggulawo enzigi mu maaso ge
ne ziwankaaki teziriggalwawo;#Yob 12:21, Is 41:5
2ndikukulembera
ne ntereeza ebifo ebitali bisende;
ndimenyaamenya enzigi ez'ebikomo
ne ntemaatema ebisiba eby'ebyuma;#Zab 107:16, Is 40:4
3era ndikuwa obugagga obw'omu kizikiza
n'ebintu ebyakwekebwa ebiri mu bifo eby'ekyama,
olyoke omanye nga nze Mukama
Katonda wa Isiraeri, akuyita erinnya lyo.#Is 43:1, Yer 51:13
4Ku lwa Yakobo omuweereza wange
ne ku lwa Isiraeri omulonde wange;
kyenvudde nkuyita erinnya lyo,
nkutuumye erinnya newakubadde nga tommanyanga.#Is 62:2
5Nze Mukama so tewali mulala;
tewali Katonda wabula nze;
ndikusiba olukoba, newakubadde nga tommanyanga,
6balyoke bamanye okuva ebuvanjuba
n'okuva ebugwanjuba nga tewali wabula nze;
nze Mukama so tewali mulala.#Is 37:20, Mal 1:11
7Nze nnassaawo omusana era ntonda ekizikiza;
ndeeta emirembe era ntonda obubi;
nze Mukama akola ebyo byonna.#Is 41:23, Am 3:6
8Ggwe eggulu, tonnyesa okuva waggulu,
n'ebbanga littulukuse obutuukirivu;
ensi eyasame, baggyeemu obulokozi,
emeze obutuukirivu wamu;
nze Mukama nnagitonda.#Zab 85:11, Kos 10:12
9Zisanze oyo awakana n'Omukozi we!
oluggyo mu ngyo ez'ensi!
Ebbumba lirigamba oyo alibumba nti Okola ki?
Oba omulimu gwo guligamba nti, “ Talina ngalo?”#Is 10:15; 64:8, Bar 9:20
10Zimusanze oyo agamba kitaawe nti, “Ozaala ki?”
Oba omukazi nti, “ Olumwa kuzaala ki?”
11Bw'atyo bw'ayogera Mukama,
Omutukuvu wa Isiraeri era Omutonzi we,
nti, “ Muyinza okumbuuza ebigambo ebigenda okujja; ebya batabani bange,
oba okumpa ebiragiro ku bikwata ku mirimu gy'emikono gyange?”#Is 41:23; 64:8
12Nnakola ensi
ne ntondera abantu mu yo;
emikono gyange gyennyini gye gya bamba eggulu,
era ne ndagira eby'omu bbanga byonna okutondebwa.#Lub 2:1, Yer 27:5
13Mmugolokosezza mu butuukirivu,
era ndigolola amakubo ge gonna,
alizimba ekibuga kyange,
era aliteera ddala abantu bange abawaŋŋangusibwa,
si lwa muwendo so si lwa mpeera,
bw'ayogera Mukama ow'eggye.#Is 41:2; 52:3
14Bw'atyo bw'ayogera Mukama
nti Omulimu gwe Misiri n'obuguzi bw'e Kuusi
n'Abasabeya, abasajja abawanvu,
balikusenga ne baba babo;
balikugoberera;
nga bali mu masamba balisenga;
era balikuvuunamira
balikwegayirira nga boogera
nti, “Mazima Katonda ali mu ggwe; so tewali mulala,
tewali Katonda mulala.”#Is 14:2; 43:3
15Mazima ggwe Katonda eyeekweka,
ggwe Katonda wa Isiraeri, Omulokozi.
16Balikwatibwa ensonyi, weewaawo, baliswala, bonna:
baligendera wamu mu kuswala abakola ebifaananyi.
17Naye Isiraeri alirokolebwa Mukama
n'obulokozi obutaliggwaawo;
temuukwatibwenga nsonyi temuuswalenga
emirembe n'emirembe.#Is 54:4
18Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama
eyatonda eggulu; ye Katonda;
eyabumba ensi n'agikola; ye yaginyweza,
yagitonda obutaba ddungu, yagibumba okutuulwamu;
nti Nze Mukama; so tewali mulala.#Lub 1:2, Zab 115:16
19Ssoogereranga mu kyama,
mu kifo eky'omu nsi ey'ekizikiza;
sigambanga zzadde lya Yakobo
nti Munnoonyeze bwereere:
nze Mukama njogera mazima,
mbuulira ebigambo bya nsonga.#Ma 30:11, Is 48:16
20Mwekuŋŋaanye mujje;
musembere wamu,
mmwe abawonye ku mawanga!
tebalina magezi
abasitula omuti ogw'ekifaananyi kyabwe ekyole
ne beegayirira katonda
atayinza kulokola.#Is 41:1; 44:17,18; 46:1,7, Yer 10:5
21Mubuulire era muleete ensonga zammwe;
muteeseze wamu.
Ani eyalanga ekyo okuva mu biro eby'edda?
ani eyakibuulira okuva edda?
si nze Mukama?
so tewali Katonda mulala wabula nze;
Katonda omutuukirivu era omulokozi;
tewali mulala wabula nze.#Is 41:22,26; 43:9,11
22Mutunuulire nze, mulokoke,
mmwe enkomerero zonna ez'ensi:
kubanga nze Katonda so tewali mulala.#Is 43:5,6
23Neerayidde mwene,
ekigambo kivudde mu kamwa kange mu butuukirivu
so tekirikomawo,
nga nze buli vviivi lirinfukaamirira,
buli lulimi lulirayira nze.#Lub 22:16, Bar 14:11, Baf 2:10
24Walibaawo aliŋŋamba nti, “mu Mukama
mwokka mwe muli obutuukirivu n'amaanyi;
eri oyo abantu gye balijja,
n'abo bonna abaamusunguwalira balikwatibwa ensonyi.#Is 41:11; 44:8
25Mu Mukama ezzadde lyonna erya Isiraeri
mwe liriweerwa obutuukirivu era mwe liryenyumiririza.”

Currently Selected:

Isaaya 45: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in