1
Isaaya 43:19
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Laba, nkola ekintu ekiggya; kaakano kitandise okulabika, temukiraba? ndikuba oluguudo ne mu lukoola, ne ndeeta emigga mu ddungu.
Compare
Explore Isaaya 43:19
2
Isaaya 43:2
Bw'onooyitanga mu mazzi, nnaabeeranga naawe; ne mu migga, tegirikusaanyawo; bw'onootambulanga okuyita mu muliro, toosiriirenga; so n'omuliro tegulyakira ku ggwe.
Explore Isaaya 43:2
3
Isaaya 43:18
nti Temujjukira ebyasooka okubaawo, so temulowooza bigambo bya dda.
Explore Isaaya 43:18
4
Isaaya 43:1
Naye kaakano bw'atyo bw'ayogera Mukama eyakutonda, ggwe Yakobo, era eyakubumba, ggwe Isiraeri, nti, “Totya, kubanga nkununudde, nakuyita erinnya lyo, oli wange.
Explore Isaaya 43:1
5
Isaaya 43:4
Kubanga wali wa muwendo mungi mu maaso gange, era wa kitiibwa, nange nnakwagala; kyendiva mpaayo abasajja ku lulwo n'amawanga ku lw'obulamu bwo.
Explore Isaaya 43:4
6
Isaaya 43:3
Kubanga nze ndi Mukama Katonda wo, Omutukuvu wa Isiraeri, omulokozi wo; n'awaayo Misiri okuba ekinunulo kyo, Kuusi ne Seba ku lulwo.
Explore Isaaya 43:3
7
Isaaya 43:5
Totya; kubanga nze ndi wamu naawe; ndireeta ezzadde lyo okuliggya ebuvanjuba ne nkukuŋŋaanya okuva ebugwanjuba
Explore Isaaya 43:5
8
Isaaya 43:25
Nze, nze mwene, nze nzuuyo asangula ebyonoono byo ku lwange nze; so sirijjukira bibi byo.
Explore Isaaya 43:25
9
Isaaya 43:10
Mmwe muli bajulirwa bange, bw'ayogera Mukama, n'omuweereza wange gwe nnalonda; mulyoke mumanye munzikirize mutegeere nga nze nzuuyo; tewali Katonda eyabumbibwa okusooka nze, so tewaliba alinziririra.
Explore Isaaya 43:10
10
Isaaya 43:11
Nze, nze mwene, nze Mukama; so tewali mulokozi wabula nze.
Explore Isaaya 43:11
11
Isaaya 43:13
Weewaawo, okuva mu nnaku ez'edda, Nze nzuuyo; so tewali ayinza okuwonya omuntu mu mukono gwange; Bwe nkola omulimu, ani okuguziyiza?
Explore Isaaya 43:13
12
Isaaya 43:20-21
Ensolo ez'omu nsiko zirinzisaamu ekitiibwa, ebibe ne bamaaya; kubanga ngaba amazzi mu lukoola n'emigga mu ddungu, okunywesa abantu bange, abalonde bange; abantu be nneebumbira nzekka boolesenga ettendo lyange.
Explore Isaaya 43:20-21
13
Isaaya 43:6-7
ndigamba obukiikakkono nti, Waayo b'olina; n'obukiikaddyo nti, Tobagaanira; leeta batabani bange okuva ewala ne bawala bange okuva ku nkomerero y'ensi; buli muntu eyatuumibwa erinnya lyange era gwe nnatondera ekitiibwa kyange; gwe nnabumba, gwe nnatonda.”
Explore Isaaya 43:6-7
14
Isaaya 43:16-17
Bw'atyo bw'ayogera Mukama, akuba oluguudo mu nnyanja n'ekkubo mu mazzi ag'amaanyi; afulumya eggaali n'embalaasi, eggye n'obuyinza; bagalamira wamu, tebaligolokoka; bazikiridde, bazikidde ng'enfuuzi
Explore Isaaya 43:16-17
15
Isaaya 43:15
Nze ndi Mukama, Omutukuvu wammwe, Omutonzi wa Isiraeri, Kabaka wammwe.
Explore Isaaya 43:15