Isaaya 42
42
Essuubi ly'omuweereza wa Katonda
1 #
Mat 12:18-21
Laba omuweereza wange gwe mpanirira;
omulonde wange obulamu bwange gwe busanyukira;
ntadde omwoyo gwange ku ye;
alireeta obwenkanya eri amawanga.#Is 2:4; 41:8; 42:19; 52:13; 61:1, Mat 3:17; 12:18-21, Bik 3:26; 4:27, Baf 2:7
2Talireekaana oba okuyimusa eddoboozi lye,
oba okuliwuliza mu luguudo.
3Olumuli olubetentefu talirumenya
so n'enfuuzi ezinyooka talizizikiza,
mu bwesigwa alireeta obwenkanya.#Is 57:15
4Taliremererwa oba okuggwamu essuubi
okutuusa lw'alisaawo obwenkanya mu nsi;
n'ebizinga biririndirira amateeka ge.#Is 2:3; 60:9
5Bw'atyo bw'ayogera Katonda Mukama,
eyatonda eggulu n'alibamba;
eyayanjuluza ensi n'ebyo ebigivaamu;
awa omukka abantu abagiriko
n'omwoyo abo abagitambulako:#Is 44:24; 45:12, Bik 17:25
6Nze Mukama nakuyita mu butuukirivu,
ndikukwata ku mukono era nnaakukuumanga,
ne nkuwa okubanga endagaano y'abantu,
okubanga omusana eri ab'amawanga;#Is 49:6,8, Luk 2:32
7okuzibula amaaso g'abazibe b'amaaso,
okuggya abasibe mu bunnya,
n'abo abatuula mu kizikiza mu nnyumba ey'ekkomera.#Is 35:5; 61:1, Luk 1:79, Beb 2:15
8Nze Mukama; eryo lye linnya lyange;
n'ekitiibwa kyange sirikiwa mulala,
newakubadde ettendo lyange eri ebifaananyi ebyole.#Is 48:11
9Laba, ebyasooka okubaawo bituuse,
n'ebiggya mbibuulira;
nga tebinnaba kulabika mbibabuulira.#Is 43:19
10Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya,
n'ettendo lye okuva ku nkomerero y'ensi;
mmwe abasaabala ku nnyanja ne byonna ebigirimu,
ebizinga n'ababibeeramu#Zab 33:3; 107:23
11Eddungu n'ebibuga byamu biyimuse eddoboozi lyabyo,
ebyalo Kedali mw'atuula;
abatuula mu Seera bayimbe,
leka baleekaanire waggulu nga basinziira ku ntikko z'ensozi.
12Bamuwe Mukama ekitiibwa,
era babuulire ettendo lye mu bizinga.
13Mukama alifuluma ng'ow'amaanyi;
ng'omutabazi alijja yeeswanta,
n'okuleekaana ng'alangirira olutalo.
Era aliwangula abalabe be.#Zab 78:65, Is 59:17
14Ebbanga ggwanvu nga nsirise nga siriiko kye ŋŋamba,
nnabeerera awo ne nzibiikiriza;
kaakano n'ayogerera waggulu ng'omukazi alumwa okuzaala;
nnaawejjawejja nga nzisa ebikkowe.
15Ndizikiriza ensozi n'obusozi,
ne mpotosa emiddo gyako gyonna;
era ndifuula emigga ebizinga
ne nkaliza ebidiba.#Is 50:2
16Era ndikulembera abazibe b'amaaso
mu kkubo lye batamanyi;
mu mpitiro ze batamanyi mwe ndibayisa;
ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe,
n'ebifo ebikyamu ndibigolola.
Ebyo ndibikola so siribaleka.#Is 35:8; 40:4
17Balikyusibwa okudda emabega, balikwatibwa ensonyi nnyingi,
abeesiga ebifaananyi ebyole,
abagamba ebifaananyi ebisaanuuse
nti, “Mmwe muli bakatonda baffe.”#Zab 97:7, Is 1:29; 45:16
18Muwulire, mmwe abaggavu b'amatu;
mutunule, mmwe abazibe b'amaaso, mulyoke mulabe.
19Ani omuzibe w'amaaso wabula omuweereza wange
oba omuggavu wa matu wabula omubaka wange gwe ntuma?
ani omuzibe w'amaaso ng'oyo eyatabagana nange
oba omuzibe w'amaaso ng'omuweereza wa Mukama?
20Olaba bingi naye teweetegereza;
amatu ge gagguse naye tawulira.#Yer 6:10
21Mukama yasiima, olw'obutuukirivu bwe,
okukuza amateeka n'okugassaamu ekitiibwa.
22Naye bano be bantu abaanyagibwa ne batemulwa
bo bonna bateegebwa mu bunnya,
era bakwekeddwa mu nnyumba ez'amakomera;
bafuuka munyago nga tewali abanunula,
bafuuliddwa abanyage so tewali ayogera nti, “Bateebwe.”#Is 14:17
23Ani ku mmwe anaategera ekyo okutu?
anaategereza n'awulira olw'ebiro ebigenda okujja?#Mat 13:9
24Ani eyawaayo Yakobo omunyago
ne Isiraeri eri abanyazi?
Si Mukama? Oyo gwe twayonoona,
so tebaaganya kutambulira mu makubo ge,
so tebaagondera mateeka ge.
25Kyeyava amufukako ekiruyi eky'obusungu bwe n'amaanyi ag'entalo; ne kimwokya enjuyi zonna era teyamanya;
era kyamusonsomola, era teyakissaako mwoyo.#Kos 7:9
Currently Selected:
Isaaya 42: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.