Isaaya 1
1
Ebinenyezebwa Yuda mu biseera bya kabaka Uzziya ne Yosamu
(1:1—5:30)
1Okwolesebwa kwa Isaaya omwana wa Amozi, kwe yalabanga ku Yuda ne Yerusaalemi, mu mirembe gya Uzziya, Yosamu, Akazi, ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda.
#
2 Bassek 15:32—16:20; 18:1—20:21, 2 Byom 26:1—32:33, Is 7:1-12; 36:1—39:8 2Wulira, ggwe Eggulu, era tega okutu, ggwe Ensi,
kubanga Mukama ayogedde:
nnayonsa ne ndera abaana,
naye ne banjeemera.#Ma 4:26; 32:1,15
3Ente emanya nnyini yo,
n'endogoyi emanya ekisibo kya Mukama waayo;
naye Isiraeri tammanyi,
abantu bange tebalowooza.
4Woowe eggwanga eririna ebibi,
abantu abajudde obutali butuukirivu,
ezzadde ery'abakola ebibi,
abaana aboonoona!
balese Mukama,
banyoomye Omutukuvu wa Isiraeri,
basenguse bamuvuddeko bamukubye amabega.#Is 5:24, Ez 14:5
5Lwaki mweyongera okujeema?
Mwagala mwongere okubonerezebwa?
Omutwe gwo gwonna gulwadde,
n'omutima gwo gwonna gunafuye.#Yer 2:30; 5:3
6Okuva munda w'ekigere okutuuka ku mutwe
temuli bulamu
wabula ebiwundu, n'okuzimba,
n'amabwa agatirika omusaayi,
agatanyigibwanga, agatasibibwanga,
wadde okusiigibwako eddagala.
7Ensi yammwe esigadde matongo,
ebibuga byammwe byokeddwa omuliro;
Ensi yammwe, ab'amawanga
bagiwamba nga mulaba,
ne basaanyawo byonna ebigirimu.#Ma 28:51, Is 6:11,12
8Era omuwala wa Sayuuni alekeddwa
ng'ensiisira eri mu lusuku lw'emizabbibu,
ng'ekiwumulirwamu ekiri mu nnimiro y'emyungu,
ng'ekibuga ekizingiziddwa.#Yob 27:18
9Mukama ow'eggye
singa teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo,
twandibadde nga Sodomu, twandifaananye nga Ggomola.#Lub 19:24, Bar 9:29
10Muwulire ekigambo kya Mukama,
mmwe abafuga Sodomu!
mutege okutu eri amateeka ga Katonda waffe,
mmwe abantu ab'e Ggomola!
11Zigasa ki ssaddaaka zammwe enkumu ze munsalira?
bw'ayogera Mukama;
Nzikuse endiga ennume enjokye eziweebwayo
n'amasavu g'ensolo zammwe ensibe;
so sisanyukira musaayi gwa nte,
oba ogw'endiga, oba ogw'embuzi ennume,#Nge 15:8, Yer 6:20
12Bwe mujja okulabika mu maaso gange,
ani eyabasalira kino,
okulinnyirira empya zange?
13Temuleetanga nate ebitone ebitaliimu.
obubaane bwa muzizo gye ndi;
emyezi egibonese ne Ssabbiiti n'okuyita amakuŋŋaaniro,
Ssisobola kugumiikiriza butali butuukirivu na kukuŋŋaana kwa ddiini.#Leev 23:36, Kubal 28:9,11, Yo 2:15
14Emyezi gyammwe egibonese n'embaga zammwe eziragiddwa
emmeeme yange ebikyaye,
bifuuse mugugu gye ndi;
nkooye okubigumiikirizanga.
15Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe
nnabakwekanga amaaso gange,
era ne bwe munaasabanga ennyo
ssiiwulirenga
emikono gyammwe gijjude omusaayi.#1 Bassek 8:22, Mi 3:4
16Munaabe, mwerongoose;
muggyirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi.
Mukomye okukola obubi.#Zab 34:14, Yer 4:14; 22:3
17Muyige okukolanga obulungi.
Munoonyenga amazima.
Mudduukirirenga abajoogebwa,
mulwanirirenga atalina kitaawe,
muwolerezenga nnamwandu.
18Mujje nno, tuteese ffembi,
bw'ayogera Mukama:
ebibi byammwe ne bwe biba ng'olugoye olumyufu,
binaaba byeru ng'omuzira;
ne bwe binaaba bikwafu nga langi emyufu,
binatukula ng'ebyoya by'endiga.#Zab 51:7, Is 43:26
19Bwe munaagondanga ne muwulira,
munaalyanga ebirungi eby'ensi:
20naye bwe munaagaananga ne mujeemanga,
munaaliibwanga n'ekitala;
kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.#Is 40:5, Mi 4:4
21Ekibuga ekyesigwa
nga kifuuse omwenzi!
oyo eyajjulanga amazima!
obutuukirivu bwatulanga mu ye,
naye kaakano kirimu bassi.#Yer 2:20; 31:23
22effeeza yo efuuse masengere,
omwenge ogutabuddwamu amazzi.
23Abalangira bo bajeemu,
mikwano gya babbi.
Buli muntu yeegomba enguzi,
era banoonya kuweebwa birabo;
tebalwanirira atalina kitaawe,
n'ensonga ya nnamwandu tetuuka gyebali.#Yer 5:28, Mi 7:3, Zek 7:10
24N'olwekyo kyava ayogera Mukama,
Mukama ow'eggye,
Ow'amaanyi owa Isiraeri,
nti, “Nja kufuka obusungu ku abalabe bange,
era ndiwalana eggwanga ku abo abankyawa.#Lub 49:24
25era ndikuteekako omukono gwange,
ne nnongooseza ddala amasengere go gonna,
nkufuule ekintu ekirungi.#Ez 22:20
26era ndikomyawo abalamuzi bo ng'olubereberye,
n'abateesa ebigambo byo nga mu kusooka;
oluvannyuma oliyitibwa kibuga kya butuukirivu,
ekibuga ekyesigwa.”#Zek 8:3
27Sayuuni alinunulibwa mu mazima,
na beenenya mu ye n'obutuukirivu.
28Naye abajeemu n'abalina ebibi balizikiririra wamu,
n'abo abaleka Mukama balimalibwawo.
29Kubanga ensonyi ziribakwata olw'emivule
gye mwegomba,
era muliswazibwa olw'ensuku
ze mweroboza.#Is 57:5; 65:3, Kos 4:13,19
30Kubanga muliba ng'omuvule oguwotoka amakoola,
era ng'olusuku omutali mazzi.#Yer 17:7,8
31Era ow'amaanyi aliba ng'enfuuzi,
n'omulimu gwe ng'olusasi olw'omuliro;
era byombi biriggira wamu,
so tewaliba abizikiza.
Currently Selected:
Isaaya 1: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.