YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya Ennyanjula

Ennyanjula
Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi yayitibwa okuba nnabbi mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira (6:1). Obubaka bwe bwali bugenda eri obwakabaka bwa Yuda ne ku kibuga Yerusaalemi. Ebiseera bye byali bizibu kubanga mu kiseera kye obwakabaka bwa Isiraeri bwalumbibwa Bwasuli ne buggyibwawo mu mwaka 722 BC; aba Isiraeri ne bawaŋŋangusibwa ne batwalibwa mu bitundu ebirala ate abantu abalala ne baleetebwa mu Isiraeri (2 Bassek 17:22-24). Isaaya yategeeza obubaka bwe okumalira ddala emyaka ana (40), kyokka nga ayogerera mu bantu abatawulira kulabulwa. Yategeeza obubaka bwe mu kiseera kya bakabaka ba Yuda bano: Uzziya (767-740), Yosamu (739-731 BC), Akazi (731-715 BC) ne Keezeekiya (715-686 BC).
Ebiri mu kitabo
I. Ebinenyezebwa Yuda mu biseera bya kabaka Uzziya ne Yosamu (1:1—5:30).
II. Okuyitibwa kwa Isaaya (6:1-13).
III. Obunnabbi eri Yuda mu biseera kya kabaka Akazi (7:1—12:6).
IV. Obunnabbi eri amawanga amalala (13:1—23:18).
V. Obunnabbi ku lunaku lwa Mukama (24:1—27:13).
VI. Obunnabbi bw'omusango n'omukisa (28:1—35:10).
VII. Ebyafaayo ku kabaka Keezeekiya (36:1—39:8).
VIII. Essuubi eri abaali mu buwaŋŋanguse (40:1—55:13).
IX. Obunnabbi bw'okununulibwa kwa Isiraeri (56:1—57:21).
X. Obunnabbi bwe kitiibwa kya Isiraeri eky'omu maaso (58:1—66:24).

Currently Selected:

Isaaya Ennyanjula: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in