1
Isaaya 1:18
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Mujje nno, tuteese ffembi, bw'ayogera Mukama: ebibi byammwe ne bwe biba ng'olugoye olumyufu, binaaba byeru ng'omuzira; ne bwe binaaba bikwafu nga langi emyufu, binatukula ng'ebyoya by'endiga.
Compare
Explore Isaaya 1:18
2
Isaaya 1:19
Bwe munaagondanga ne muwulira, munaalyanga ebirungi eby'ensi
Explore Isaaya 1:19
3
Isaaya 1:17
Muyige okukolanga obulungi. Munoonyenga amazima. Mudduukirirenga abajoogebwa, mulwanirirenga atalina kitaawe, muwolerezenga nnamwandu.
Explore Isaaya 1:17
4
Isaaya 1:20
naye bwe munaagaananga ne mujeemanga, munaaliibwanga n'ekitala; kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
Explore Isaaya 1:20
5
Isaaya 1:16
Munaabe, mwerongoose; muggyirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi. Mukomye okukola obubi.
Explore Isaaya 1:16
6
Isaaya 1:15
Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe nnabakwekanga amaaso gange, era ne bwe munaasabanga ennyo ssiiwulirenga emikono gyammwe gijjude omusaayi.
Explore Isaaya 1:15
7
Isaaya 1:13
Temuleetanga nate ebitone ebitaliimu. obubaane bwa muzizo gye ndi; emyezi egibonese ne Ssabbiiti n'okuyita amakuŋŋaaniro, Ssisobola kugumiikiriza butali butuukirivu na kukuŋŋaana kwa ddiini.
Explore Isaaya 1:13
8
Isaaya 1:3
Ente emanya nnyini yo, n'endogoyi emanya ekisibo kya Mukama waayo; naye Isiraeri tammanyi, abantu bange tebalowooza.
Explore Isaaya 1:3
9
Isaaya 1:14
Emyezi gyammwe egibonese n'embaga zammwe eziragiddwa emmeeme yange ebikyaye, bifuuse mugugu gye ndi; nkooye okubigumiikirizanga.
Explore Isaaya 1:14