Okuva 19
19
Abaana ba Isiraeri bafuuka eggwanga lya Katonda ku lusozi Sinaayi
(19:1—40:38)
Katonda ayogera ne Musa ku lusozi Sinaayi (19:1-25)
1Ku lunaku olusooka mu mwezi ogwokusatu, nga abaana ba Isiraeri bamaze okuva mu nsi ey'e Misiri ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi 2Bwe baava mu Lefidimu ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi, ne bakuba eweema mu ddungu; Isiraeri n'asiisira wali mu maaso g'olusozi.#Kubal 33:15 3Musa n'alinnya eri Katonda, Mukama n'amuyita ng'ayima ku lusozi, ng'ayogera nti, “Bw'otyo bw'olibagamba ennyumba ya Yakobo, n'obabuulira abaana ba Isiraeri#Bik 7:38 4nti, ‘Mwalaba bye nnakola Abamisiri, era bwe nnabasitulira mmwe ku biwaawaatiro by'empungu, era bwe nnabaleeta gye ndi.#Ma 29:2; 32:11, Is 63:9 5Kale, kaakano, bwe munaawuliranga ddala eddoboozi, lyange ne mukwata endagaano yange, bwe mutyo mmwe munaabanga ekintu kyange ekiganzi mu mawanga gonna; kubanga ensi yonna yange,#Ma 7:6; 10:14; 26:18, Zab 24:1; 50:12; 135:4, 1 Kol 10:26, Tit 2:14 6nammwe mulimbeerera obwakabaka bwa bakabona, n'eggwanga ettukuvu.’ Bino bye bigambo by'olibabuulira abaana ba Isiraeri.”#Leev 20:26, Ma 7:6; 26:19, 1 Peet 2:9, Kub 5:10; 20:6 7Musa n'ajja n'ayita abakadde b'abantu, n'ateeka mu maaso gaabwe ebigambo bino byonna Mukama bye yamulagira. 8Abantu bonna ne baddamu awamu ne boogera nti, “Byonna Mukama bye yayogera tulibikola.” Musa n'aleeta nate ebigambo by'abantu eri Mukama.#Kuv 24:3,7, Ma 5:27; 26:17 9Mukama n'agamba Musa nti, “Laba, njija gy'oli mu kire ekikutte, abantu bawulire bwe njogera naawe, era bakukkirize ennaku zonna.” Musa n'abuulira Mukama ebigambo eby'abantu.#Ma 4:11,12, Zab 18:11; 97:2, Mat 17:5 10Mukama n'agamba Musa nti, “Genda eri abantu, obatukuze leero ne enkya, era bayoze engoye zaabwe,#Leev 11:44-45; 15:5 11beeteketeeke okutuusa olunaku olwokusatu; kubanga ku lunaku olwokusatu Mukama alikka mu maaso g'abantu bonna ku lusozi Sinaayi. 12Naawe abantu olibateekera ensalo enjuyi zonna, ng'oyogera nti, ‘Mwekuume, muleme okulinnya ku lusozi newakubadde okukwata ku nsalo yaalwo; buli alikwata ku lusozi, talirema kuttibwa.#Beb 12:20 13Ensolo yonna oba omuntu yenna alikoma ku lusozi, alittibwa ng'akubibwa amayinja oba okulasibwa n'akasaale; omuntu yenna aleme okumukomako.’ Eŋŋombe bw'erivuga ennyo olwo abantu ne balyoka basemberera olusozi.” 14Musa n'akka ng'ava ku lusozi ng'ajja eri abantu, n'atukuza abantu; ne bayoza engoye zaabwe. 15N'agamba abantu nti, “Mweteekereteekere olunaku olwokusatu; temusemberera mukazi.”#1 Sam 21:4,5, 1 Kol 7:5 16Awo ku lunaku olwokusatu, bwe bwakya enkya, ne waba okubwatuka n'okumyansa, n'ekire ekikutte ku lusozi, n'eddoboozi ery'eŋŋombe eddene ennyo; awo abantu bonna abaali mu lusiisira ne bakankana.#Beb 12:19,21 17Musa n'aleeta abantu okuva mu lusiisira basisinkane Katonda; ne bayimirira wansi w'olusozi.#Ma 4:10 18Olusozi Sinaayi lwonna ne lunyooka omukka, kubanga Mukama yalukkirako mu muliro; omukka gwalwo ne gunyooka ng'omukka gw'ekikoomi, olusozi lwonna ne lukankana nnyo.#Ma 4:11, Zab 68:7,8; 144:5, Yer 4:24, Beb 12:18,26, Kub 15:8 19Eddoboozi ly'eŋŋombe bwe lyavuga ne lyeyongera nnyo, Musa n'ayogera, Katonda n'amuddamu n'eddoboozi.#Nek 9:13, Zab 81:7 20Mukama n'akka ku lusozi Sinaayi, ku ntikko y'olusozi; Mukama n'ayita Musa okulinnya ku ntikko y'olusozi, Musa n'alinnya. 21Mukama n'agamba Musa nti, “Serengeta, olagire abantu baleme okuwaguza eri Mukama okwekaliriza n'amaaso, abantu bangi baleme okuzikirira.#1 Sam 6:19 22Era ne bakabona abasemberera Mukama, beetukuze, Mukama aleme okubabonereza.”#Leev 10:3, 2 Sam 6:7 23Musa n'agamba Mukama nti, “Abantu tebayinza kulinnya ku lusozi Sinaayi; kubanga watulagira, ng'oyogera nti, ‘Teeka ensalo okwetooloola olusozi, era olutukuze.’ ” 24Mukama n'amugamba nti, “Genda, oserengete; naawe olirinnya wamu ne Alooni; naye bakabona n'abantu baleme okuwaguza okulinnya eri Mukama, aleme okubabonereza.” 25Awo Musa n'aserengeta eri abantu, n'ababuulira.
Currently Selected:
Okuva 19: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.