Okuva 20
20
Amateeka ekkumi n'ebiragiro (20:1—23:33)
1Katonda n'ayogera ebigambo bino byonna, ng'ayogera nti,#Ma 5:22, Yok 1:17 2“Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi ey'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu.”#Ma 5:6-21, Kuv 13:3, Leev 26:13, Zab 81:10
3“Tobanga na bakatonda balala we ndi.”#2 Bassek 17:35, Yer 25:6
4“Teweekoleranga ekifaananyi ekyole, newakubadde ekifaananyi eky'ekintu kyonna kyonna, ekiri waggulu mu ggulu, newakubadde ekiri wansi ku ttaka, newakubadde ekiri mu mazzi agali wansi w'ettaka;#Leev 26:1, Ma 4:16-18; 27:15 5tobivuunamiranga ebyo, so tobiweerezanga; kubanga nze Mukama Katonda wo, ndi Katonda wa buggya, abiwalana ku baana ebibi bya bajjajjaabwe okutuusa ku mirembe egy'oku bannakasatwe ne ku bannakana, egy'abantu abankyawa;#Kuv 23:33; 34:7,14, Kubal 14:18, Ma 4:24, Yos 24:19, Zab 109:14, Nak 1:2 6era addiramu abantu nga nkumi na nkumi abanjagala, era abakwata amateeka gange.”#Ma 7:9, Yer 32:18
7“Tolayiriranga bwereere erinnya lya Mukama Katonda wo; kubanga mu maaso ga Mukama omusango gulimusinga omuntu alayirira obwereere erinnya lye.”#Leev 19:12
8“Jjukira olunaku olwa Ssabbiiti, okulutukuzanga.#Leev 19:3,30 9Ennaku omukaaga okolanga emirimu gyo gyonna;#Kuv 34:21; 35:2, Luk 13:14 10naye olunaku olw'omusanvu ye Ssabbiiti eri Mukama Katonda wo; olunaku olwo tolukolerangako mirimu gyonna gyonna; ggwe kennyini, newakubadde omwana wo omulenzi, newakubadde muwala wo, newakubadde omudduwo, newakubadde omuzaana wo, newakubadde ebisolo byo, newakubadde munnaggwanga ali omumwo;#Lub 2:2,3, Kuv 16:26, Nek 13:16-19 11kubanga mu nnaku omukaaga Mukama mwe yakolera eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebintu byonna ebirimu, n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu; Mukama kyeyava aluwa omukisa olunaku olwa Ssabbiiti, n'alutukuza.”#Ma 5:15, Beb 4:4
12“Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa; ennaku zo zibe nnyingi ku nsi gy'akuwadde Mukama Katonda wo.”#Leev 19:3, Mat 15:4; 19:19, Bef 6:2,3, Mat 19:18,19, Bar 13:9
13“Tottanga.”#Ma 5:17, Mat 5:21; 19:18, Yak 2:11
14“Toyendanga.”#Leev 18:20, Ma 5:18, Mat 5:27; 19:18, Bar 13:9, Yak 2:11
15“Tobbanga.”#Leev 19:11, Ma 5:19, Bar 13:9
16“Towaayirizanga muntu munno.”#Ma 5:20, Mat 19:18
17“Teweegombanga nnyumba ya muntu munno, teweegombanga mukazi wa muntu munno, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye, newakubadde endogoyi ye, newakubadde buli kintu ekya muntu munno.”#Ma 5:21, Nge 6:25, Mi 2:2, Bar 7:7; 13:9, Bef 5:3, Kuv 19:16,18
18Abantu bonna ne balaba okubwatuka, n'enjota, n'eddoboozi ly'eŋŋombe, n'olusozi nga lunyooka omukka, abantu bwe baalaba ne bakankana, ne bayimirira wala.#Beb 12:18 19Ne bagamba Musa nti, “Ggwe yogera naffe, lwe tunaawulira; naye Katonda aleme okwogera naffe, tuleme okufa.”#Ma 5:27, Beb 12:19 20Musa n'agamba abantu nti, “Temutya; kubanga Katonda azze okubageza, era entiisa ye ebeere mu maaso gammwe, muleme okwonoona.”#Ma 4:10, Nge 3:7 21Abantu ne bayimirira wala, Musa n'asemberera ekizikiza ekikutte Katonda gy'ali.
22Mukama n'agamba Musa nti, “Bw'otyo bw'ogamba abaana ba Isiraeri nti, ‘Mmwe mulabye nga nnyimye mu ggulu okwogera nammwe. 23Temukolanga bakatonda balala we ndi, bakatonda ab'effeeza, newakubadde bakatonda ab'ezzaabu, temubeekoleranga. 24Onkolere ekyoto eky'ettaka, osseeko ebyo by'owaayo ebyokebwa n'ebyo by'owaayo olw'emirembe, endiga zo n'ente zo; buli wantu we njijukiririzanga erinnya lyange, ndijja gy'oli nange ndikuwa omukisa.#Lub 12:2, Ma 12:5,11, 1 Bassek 8:29 25Era bw'olinkolera ekyoto eky'amayinja, tokizimbyanga mayinja agatemebwa; kubanga bw'olikiyimusaako ekyuma kyo, ng'olwo tekikyasaanira.#Ma 27:5,6, Yos 8:31 26So tolinnyanga ku kyoto kyange ku madaala, oleme okukunamirako.’ ”
Currently Selected:
Okuva 20: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.