Kale, kaakano, bwe munaawuliranga ddala eddoboozi, lyange ne mukwata endagaano yange, bwe mutyo mmwe munaabanga ekintu kyange ekiganzi mu mawanga gonna; kubanga ensi yonna yange, nammwe mulimbeerera obwakabaka bwa bakabona, n'eggwanga ettukuvu.’ Bino bye bigambo by'olibabuulira abaana ba Isiraeri.”