Okuva 18
18
Yesero mukoddomi wa Musa
1Yesero, kabona wa Midiyaani, mukoddomi wa Musa, n'awulira byonna Katonda bye yakolera Musa ne Isiraeri abantu be, nti Mukama yaggyamu Isiraeri mu Misiri.#Kuv 2:16,18; 3:1 2Yesero, kabona wa Midiyaani, mukoddomi wa Musa, n'azzaayo Zipola mukazi wa Musa, gwe yali agobye;#Kuv 2:21 3ye n'abaana be babiri; erinnya ly'omu ku bo Gerusomu;#18:3: Gerusomu Mu Lwebbulaniya litegeeza “Omugwira.” kubanga yayogera nti, “Nali mugenyi mu nsi etali yange.”#Kuv 2:22 4N'erinnya ery'omulala Eryeza#18:4 Eryeza Mu Lwebbulaniya litegeeza, “ Katonda ye Mubeezi wange.”; kubanga yayogera nti, “Katonda wa kitange yali mubeezi wange, n'amponya mu kitala kya Falaawo.” 5Yesero, mukoddomi wa Musa, n'ajja n'abaana be, ne mukazi we, eri Musa mu ddungu eryo, eyo gye yasula ku lusozi lwa Katonda. 6N'agamba Musa nti, “Nze mukoddomi wo Yesero, nzize gy'oli ne mukazi wo, n'abaana be bombi wamu naye.” 7Musa n'avaayo okusisinkana mukoddomi we, n'akutama, n'amunywegera; ne babuuzagana nti, “Otyanno?” Ne bayingira mu weema. 8Musa n'abuulira mukoddomi we byonna Mukama bye yakola Falaawo n'Abamisiri ku lwa Isiraeri, ebizibu byonna ebyababeerako mu kkubo, era nga Mukama bwe yabawonya. 9Yesero n'asanyuka ku lw'obulungi bwonna Mukama bwe yakola Isiraeri, kubanga yabalokola mu mukono gw'Abamisiri. 10Yesero n'ayogera nti, “Yeebazibwe Mukama eyabalokola mu mukono gw'Abamisiri, ne mu mukono gwa Falaawo; eyalokola abantu mu mukono gw'Abamisiri. 11Kaakano ntegedde nti Mukama ye mukulu okusinga bakatonda bonna; kubanga yawonya abantu okufugibwa Abamisiri abaabeekulumbalizaako.”#2 Byom 2:5, Zab 95:3; 97:9, Dan 2:47, Luk 1:51 12Yesero mukoddomi wa Musa, n'atwala ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka eri Katonda; Alooni n'ajja, n'abakadde bonna aba Isiraeri, balye emmere awamu ne mukoddomi wa Musa mu maaso ga Katonda.#Ma 12:7; 14:26, 1 Byom 29:22 13Awo olwatuuka enkya, Musa n'atuula okulamula abantu, abantu ne bayimirira nga beetoolodde Musa okuva enkya okutuusa akawungeezi. 14Mukoddomi wa Musa bwe yalaba byonna bye yakolera abantu, n'ayogera nti, “Kiki kino ky'okolera abantu? Lwaki ggwe wekka ggwe otudde, abantu ne baba nga bayimiridde okukwebungulula, okuva enkya okuzibya obudde.” 15Musa n'agamba mukoddomi we nti, “Kubanga abantu bajja gye ndi okubuuza Katonda; 16bwe baba n'ekigambo, ne bajja gye ndi; nange mbasalira omusango omuntu ne munne, ne mbategeeza amateeka ga Katonda, n'ebiragiro bye.”#Ma 4:5; 5:1; 17:8,9 17Mukoddomi wa Musa n'amugamba nti, “Ekigambo ky'okola si kirungi. 18Tolirema kusiriira ggwe n'abantu bano abali awamu naawe, kubanga ekigambo kizitowa okusinga bw'oyinza ggwe; toyinza kukituukiriza wekka.#Kubal 11:14, Ma 1:9,12 19Kaakano wuliriza, nze ka nkuwe amagezi, Katonda abeere naawe. Ggwe beera mubaka wa bantu eri Katonda, era otuuse ensonga zaabwe gy'ali;#Kubal 27:5, Ma 5:5 20naawe olibayigiriza amateeka n'ebiragiro, era olibalaga ekkubo eribagwanidde okuyitamu, n'emirimu egibagwanidde okukola.#Ma 1:18; 4:1, Zab 143:8 21Nate olonde mu bantu bonna abasajja abasaana, abatya Katonda ab'amazima, abakyawa amagoba agatali ga butuukirivu; obakuze ku bo, babe abakulu b'enkumi, n'abakulu b'ebikumi, n'abakulu b'ataano, n'abakulu b'amakumi;#Ma 1:15, Bik 6:3 22babasalire emisango ebiseera byonna; kale buli nsonga nnene banaagikuleeteranga ggwe, naye buli nsonga ntono banaagiramulanga bokka, bwe kityo kinaabeeranga kyangu ku ggwe, nabo baneetikkanga wamu naawe.#Leev 24:11, Kubal 11:17; 15:33; 27:2; 36:1, Ma 1:17 23Bw'olikola ekigambo ekyo, era Katonda bw'alikulagira bw'atyo, n'olyoka oyinza okugumiikiriza ggwe, n'abantu abo bonna baligenda mu kifo kyabwe mu mirembe.” 24Awo Musa n'awulira eddoboozi lya mukoddomi we, n'akola byonna bye yayogera. 25Musa n'alonda abasajja abasaanye mu Isiraeri yenna, n'abakuza mu bantu, abakulu ab'enkumi, abakulu b'ebikumi, abakulu b'amakumi ataano, n'abakulu b'amakumi.#Kubal 1:16, Ma 1:15 26Ne balamulanga abantu ebiseera byonna; ensonga enzibu baazireeteranga Musa, naye buli nsonga ntono baagiramulanga bokka. 27Musa n'asiibula mukoddomi we; n'agenda mu nsi ye.#Kubal 1:16, Ma 1:15
Currently Selected:
Okuva 18: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.