Okuva 17
17
1Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne batambula okuva mu ddungu lya Sini, nga bagenda basula, nga Mukama bwe yabalagira. Ne basiisira mu Lefidimu, naye nga tewaaliyo mazzi ga kunywa.#Kubal 33:12,14 2Abantu kyebaava bayombesa Musa, ne boogera nti, “Tuwe amazzi tunywe.” Musa n'abagamba nti, “Lwaki munnyombesa nze? Lwaki mugeza Mukama?”#Kubal 20:3, Ma 6:16, Zab 78:41; 95:8,9, Is 7:12, Mat 4:7, 1 Kol 10:9 3Abantu ne baba n'ennyonta eyo ey'amazzi, abantu ne beemulugunyiza Musa, ne boogera nti, “Lwaki watuggya e Misiri, okututta ffe n'abaana baffe, n'ebisibo byaffe n'ennyonta?”#Kuv 16:2 4Musa n'akaabirira Mukama ng'ayogera nti, “Naabakola ntya abantu bano? Babulako katono bankube amayinja.”#Kubal 14:10, 1 Sam 30:6 5Mukama n'amugamba Musa nti, “Yita mu maaso g'abantu, otwale wamu naawe ku bakadde ba Isiraeri; n'omuggo gwo, gwe wakubya omugga, ogukwate mu mukono gwo, ogende.#Kuv 7:19,20 6Laba nze n'ayimirira mu maaso go eyo ku lwazi ku Kolebu; naawe onookuba olwazi, amazzi ganaavaamu, abantu banywe.” N'akola bw'atyo Musa mu maaso g'abakadde ba Isiraeri.#Zab 105:41; 114:8, 1 Kol 10:4 7N'atuuma ekifo ekyo erinnya Masa ne Meriba,#17:7: Masa ne Meriba Mu Lwebbulaniya amannya gano gategeeza “Okugeza n'okuyomba” olw'okuyomba kw'abaana ba Isiraeri, n'okuba nga baageza Mukama, nga boogera nti, “Mukama ali mu ffe, nantiki?”
8Abamaleki ne bajja, ne balwanyisa Isiraeri mu Lefidimu.#Ma 25:17,18, 1 Sam 15:2 9Musa n'agamba Yoswa nti, “Otulondere abantu, ogende, olwane n'Abamaleki; enkya n'ayimirira ku ntikko y'olusozi, omuggo gwa Katonda nga guli mu mukono gwange.”#Kuv 4:17 10Yoswa n'akola bwatyo nga Musa bweyamulagira, n'alwana n'Abamaleki; Musa ne Alooni ne Kuuli ne balinnya ku ntikko y'olusozi.#Kuv 24:14 11Awo olwatuuka Musa bwe yayimusanga omukono gwe, Isiraeri n'agoba; bwe yassanga omukono gwe, Abamaleki ne bagoba. 12Naye emikono gya Musa ne gitendewererwa; ne batwala ejjinja ne baliteeka wansi we, n'alituulako; Alooni ne Kuuli ne bawanirira emikono gye, omu eruuyi n'omu eruuyi; emikono gye ne ginywera okutuusa enjuba okugwa. 13Yoswa n'asuula Amaleki n'abantu be, n'obwogi bw'ekitala. 14Mukama n'agamba Musa nti, “Wandiika ekyo mu kitabo okubeera ekijjukizo, okibuulire Yoswa mu matu ge; nga ndisangulira ddala okujjukirwa kwa Amaleki wansi w'eggulu.”#Ma 15:19, 1 Sam 15:3; 30:1, 2 Sam 8:12 15Musa n'azimba ekyoto, n'akituuma erinnya lyakyo Yakuwa ye bendera yange;#Balam 6:24 16n'ayogera nti, “Mukama alayidde; Mukama alirwana ne Amaleki emirembe n'emirembe.”
Currently Selected:
Okuva 17: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.