naawe olibayigiriza amateeka n'ebiragiro, era olibalaga ekkubo eribagwanidde okuyitamu, n'emirimu egibagwanidde okukola. Nate olonde mu bantu bonna abasajja abasaana, abatya Katonda ab'amazima, abakyawa amagoba agatali ga butuukirivu; obakuze ku bo, babe abakulu b'enkumi, n'abakulu b'ebikumi, n'abakulu b'ataano, n'abakulu b'amakumi