Laba nze n'ayimirira mu maaso go eyo ku lwazi ku Kolebu; naawe onookuba olwazi, amazzi ganaavaamu, abantu banywe.” N'akola bw'atyo Musa mu maaso g'abakadde ba Isiraeri. N'atuuma ekifo ekyo erinnya Masa ne Meriba, olw'okuyomba kw'abaana ba Isiraeri, n'okuba nga baageza Mukama, nga boogera nti, “Mukama ali mu ffe, nantiki?”